Entanda ya Buganda ku CBS FM 88.8 buli kiro ng’amawulire g’essaawa ssatu gawedde.
Mu ntanda ya nga 25 October, 2023 bamegganyi; Ssemaganda Gerald eyafunye obugoba 22 ne Nnassiwa Pross eyafunye obugoba 20 bayiseewo okweyongerayo mu lumeggana oluddako ate Mukooza Julius eyafunye obugoba 13, yawanduse.
Biibino ebibuuzo ebyababuuziddwa:
1. Okukuuna n’eggyengo, kikwataganye n’omulimu gw’okuyigga – Ensolo okugenda n’effumu lyebagifumise
2. Waliwo ekika ky’Abaganda omuli ekisoko kino… Asaabira ku Kyoto. Kika ki? – Kika kya Mpologoma.
3. Ssekabaka Kimbugwe e Bugwanya mu Busiro ennyumbaye yagituuma linnya ki? – Bugwanya.
4. Omutuba gwebaakayimbulako olubugo Omuganda aguyita atya? – Omutetere.
5. Tuwe erinnya ly’Omukungu akola ku nsonga z’Olukiiko lwa Buganda n’abagenyi – Omuk. David Ntege.
6. Olugero: Maluulu ga kyalo – tegakusuuza bbuzi lyo.
7. Ebigambo bino bikwanaganye n’omulimu gw’Abaganda mwebigwa. Entungo n’ekikwero – Bigwa mu mulimu gw’okukomaga.
8. Omutaka alunda ente Mugumba, omulimu ogwo agukolera ku mutala ki? – Kawoko mu Busiro.
9. Tuwe enjawulo mu bigambo bino ng’ekyokuddamu okyesigamya ku mulimu gw’obuyizzi, Kkungwa ne Kalinnyeewa – Kkungwa ye muyizzi omukugu ennyo ate Kalinnyeewa ye mukugu mu kuziga.
10. Omukazi leka eyo, leeta embwa, ekisoko ekyo kiri mu mubala gwa kika ki? – Kkobe.
11. Tuwe erinnya ly’enju ya Kabaka Jjuuko – Kannyakassasa.
12. Omutuba ogukaddiye guweebwa linnya ki? – Omukaaku.
13. Tuwe erinnya lya munnamawulire w’embuga – Omuk. Sam Dick Kasolo.
14. Olugero: Wabisegguusi mwana – ne waluggi mwana.
15. Kwanaganya ekigambo enjeguzi n’omulimu gw’obukomazi. – Ye nsaamu ejegula omulimu gwayo gwa kuyegula.
16. Omutaka alunda ente ya Kabaka ayitibwa Nnaamala, asinziira ku mutala ki okukola omulimu ogwo? – Maya mu Busiro.
17. Obubonero obwenkukunala abayizzi bwebaleka emabega okulagirira bannaabwe buweebwa linnya ki? – Obuwa.
18. Ekisoko kino kisangibwa mu mubala gwa kika ki? Kivu kijja okuluma n’okukooza? – Musu.
19. Enju ya Kabaka Mulondo yagiwa linnya ki? –
20. Omutuba oguwaatudde guweebwa linnya ki? – Etteketwe.
21. Erinnya lya Ssenkulu wa Majestic Brands. – Omuk Remmy Kisaakye.
22. Olugero: Nnoonya balungi – Akaddiwa tamanyi.
23. Ekigambo kino kikwanaganye n’omulimu gw’obukomazi. Ttiiku – Lwelugoye Omukomazi mwakomagiramu
24. Omutaka alunda ente Nsigonke, agirundira mu ssaza ki? – Busujju.
25. Olugero: Kigabo kikadde – Akyagala y’akissaako omuwambiro.
26. Ekinyonyi abaganda kyebawanuuzaako nti kibika abantu buli lwekikaaba, kinyonyi ki? – Ekiwuugulu.
27. Okukifuuwa ng’okizza mu nda kisoko, kiki ekyo ekiba kyogerwako? – Ekiwa.
28. Omutaka Kaboggoza e Nsangwa akomaga olubugo olusumikwa omulangira alya engoma, Olubugo olwo luweebwa linnya ki? – LUYIIRA
29. Ensagi zino waliwo akawuka akalya ebikoola bya kasooli , tubuulire enkula yaako ekatuusa ku musiri gwa kasooli? – Kaba kawojjolo nekagenda nga kabiika amagi gaako.
30. Ekimu ku bika bya Abaganda kyekinnanyini jjinja eriyitibwa Kkungu, kika ki? – Mpeewo.
31. Ekisoko okulumisa omuntu ekivu kitegeeza ki? – Okuttisa omuntu n’emmundu.
32. Mu lulimi oluganda mulimu ekigambo endabi, Omuganda kiki kyayita endabi? – Ensawo.
33. Omuntu bwayambala n’anyuma ayogerwako ng’omutaka w’o Mukirwanyi, yaani? – Mwambalabutonnya.
34. Mu buwangwa bw’omuganda, omuwemba ogunassibwa ku mubisi basooka kugusiikako, lwaki? – Okuwunyisa akawoowo n’okugusobozesa okuggya.
35. Olugero: Omwana w’omulyazaamaanyi – tagwa nganzi.
36. Omuganda waliwo omuntu gwayita enswenke, yaatya? – Omuntu omwavu ennyo.
37. Omuntu okufuuka omusu gw’e Kanyanya, ekisoko ekyo kitegeeza ki? – Omuntu okugenda n’atakomawo.
38. Emizizo emikulu ebiri egigendera ku mulimu gw’obuyizzi. – Omuyizzi bwaba agenda okuyigga tabuuza era bwasanga obutiko tabuggya.
39. Bwowulira erinnya lino omanya mangu nti oyo ye mwana eyaggulawo olubu lwa balongo, yaani? – Kigongo.
40. Olubiri lwa Mujaguzo lusangibwa wa? – Kabowa.
41. Eddiba lirina migaso ki? – Lyambalwa, liteekebwa ku kiwu kya Kabaka.
42. Akasaanyi akasinga okwonoona emituba kayitibwa katya? – Suula ensaamu.
43. Akabi nga kanajja – lubaale akwata mukyawe.
44. Omuntu gwebayita kimwakitoole yaaba atya? – Omusajja eyeeyisa ng’omukazi naddala ng’alya ebbumba.
45. Ekisoko kino kitegeeza ki? Okukuba omuntu akagogo. – Okunyooma naddala nga kuva eri omukazi ngakudda eri omusajja.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K.