Abakulembeze bw’Ekkanisa y’Abadiventi mu Uganda abakulembeddwamu Ssabalabirizi w’Ekkanisa y’Abadiventi Pastor Dr Moses Maka Ndimukika bakiise embuga nebasisinkana Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.
Bakiise embuga mungeri eyokunyweeza enkolagana wakati we Kanisa n’Obwakabaka,
Ssaabalabirizi w’Ekkanisa y’Abadiventi Pastor Dr Moses Maka Ndimukika yeebazizza Katikkiro olw’engeri gy’akumyekumyemu Obwakabaka mu kiseera ekitabadde kyangu, ekijjuddemu omuyaga gw’ebyobufuzi n’ebyenfuna ebiyuugayuuga.
Omulabirizi wa Central Uganda Conference Omusumba Samuel Kajoba nga yaakulembeddemu Okusabira Obwakabaka,yebazizza Katonda Olw’okukuuma abakulembeze Ssaabasajja basiima naalonda bamukulemberereko Obwakabaka, n’Okubasobozesa okubukulaakulanya.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga aabasuubizza nti wakunywererera ku kiragiro Kya Ssaabasajja Kabaka eky’okukuumira abantube mu mukwano n’Obumu , nga emu ku mpaji y’enkulaakulana mu Bwakabaka ne Uganda yonna.
Katikkiro agambye nti abakulembeze okusoosowaza obwenkanya, okukola ekituufu nókulondoola amazima byebimu ku biyamba okutumbula enkulakulana yensi.
Ssabalabirizi w’ekkanisa y’Abadiventi eyawummula John Kakembo, agambye nti ebibala ekkanisa kweyimiridde mu biro bino, by’Abavubuka abeyongedde okwagala okuweereza Omukama.
Bisakidddwa: Kato Denis