Mu program Entanda ya Buganda nga 1.11.2023, abamegganyi Kisomose Steven eyafunye obugoba 25 ne Kikomeko Moses eyafunye obugoba 20 basuumusiddwa okweyongerayo ku mutendera oguddako ate Bagenda Sseruwu eyafunye obugoba 16 yakomye awo.
Biibino ebibuuzo by’entanda ebyababuuziddwa;
1. Mu mulimu gw’abayizzi mulimu ekigambo omuliiti, omuliiti gukola mulimu ki? – Omuliiti gwebeeyambisa okuwanika ku Ngwanyu okutega ebitimba.
2. Kabiniru yali Katikkiro wa Buganda, Obwakatikkiro yabukola ku mulembe ki? – Kabaka Kyabaggu.
3. Amakulu g’ekisoko ag’ebuziba, Okuwala enswasa ku lwazi. – Okuteganira obusa.
4. Tuwe enjawulo mu bigambo, enkolwa n’eggobe – Enkolwa z’enva ezikolwa mu mazzi nga guteekeddwamu omunnyo ate eggobe ze nva ezikolwa mu nsaano y’ebikoola by’empindi.
5. Tuweeyo akalombolombo kamu akakulu mu kubyala lumonde – Bwebaba babyala ekikata ekisembayo, abyala akituulako.
6. Olugero: Bwewussa – Bwassa emmandwa.
7. Tuwe erinnya lya minister wa micro Finance mu gavumenti eyawakatai – Hajji Harruna Kyeyune Kasolo.
8. Mu kitontome kkanneemu mulimu ebyobuwangwa bya Abaganda, tuweeyo kimu – Mulimu Okufumba.
9. Buli eyeetabye mu mulimu ogwokuyigga alina kyagabana, ani agabana ensikya? – Omuyizzi asooka okufumita ku nsolo.
10. Katikkiro Ntambi yaliko ku mulembe ki? – Kagulu Tebuucwereke.
11. Amakulu g’ekisoko: Okuyimbya endubaale – Okubonyaabonya ennyo omuntu.
12. Amannya abiri gooyinza okuyita enva z’ennyama. – Ensalwa oba Akambe.
13. Akalombolombo kamu mu kusimba ebiryo – Bisimbibwa lwaggulo.
14. Olugero: Olwokya enju – Luwa Nnamunye ekkubo.
15. Arinnya lya minister omujjuvu owa Kampala – Hajjat Minsa Kabanda.
16. Eby’obuwangwa mu kayimba Nnabbubi yazimba, tuweeyo kimu – Mulimu Okuzimba.
17. Mu kugabana ennyama enjigge waliwo agabana ekigongo, ani akiweebwa? – Nnannyini ttaka omugiddwa.
18. Katikkiro Kakulukuku yakola ku mulembe ki? – Kabaka Kintu.
19. Ekisoko: Okukomba mu kibatu kitegeeza ki? – Okukuba enduulu.
20. Tuwe enjawulo wakati wa nsanyuse ne magera – Nsanyuse ze nva z’ebinyeebwa ebisekule nga temussiddwamu kintu kyonna ate magera ze nva z’ebijanjaalo ebibisi ebisotte.
21. Tuwe akalombolombo kamu mu kusimba endaggu – Asimba endaggu asooka kugyekuba ku ntumbwe.
22. Olugero: Kaawaase – tekaggwako masanda.
23. Erinnya lya minister mu gavumenti eyawakati ow’ensonga ez’omunda – Gen Severino Kahinda Otafiire.
24. Mu kitontome Nnali njokya gonja, mulimu ebyobuwangwa, tuweeyo kimu – Okugunjula omwana ng’abamukubamu omuggo.
25. Bwowulira ekisolo kino nga kikaaba ku kyalo kwandifaako omuntu, kisolo ki? – Akabe.
26. Okuteeka emmambo ku maaso kisoko, kitegeeza ki? – Okutunula obutatemya.
27. Akantu ak’ennono ababumbi kebeeyambisa okutono ebibumbe, bakakola mu ki? – Bakakola mu njulu.
28. Olugero: Kisiimwa muyise – Omutwalirwa takisiima.
29. Ani Nnamasole wa Kabaka Kamaanya e Kasengejje mu Busiro? – Nnamasole Ndwaddewazibwa.
30. Okukuba ku mumtu eky’omulubaale kisoko, eky’omulubaale kye ki? – Kimunye.
31. Omuti oguyitibwa Olufubugo gulina ekibira eky’ennono mwegusangibwa, kibira ki? – Ekibira Luggo e Ssese.
32. Lwaki omuntu agenda okwetikka amazzi mu sseppiki agassaamu olulagala? – Okugaziyiza okwesunda.
33. Ekisoko okwetyabira akirimu obuwuka kitegeeza ki? – Kwereetera Bizibu.
34. Omukongozzi wa Kabaka omukulu ye Ssekayiba, obutaka bwa Ssekayiba busangibwa wa? – Busangibwa Ssenge mu Busiro.
35. Amutemye akakule – Enkuyege keekuba essabo.
36. Tuwe obukulu bw’omuti oguyitwa Olufugo mu Buganda – Gweguvaako Ddamula.
37. Kabaka ki eyawangula Buddu n’agigatta ku Buganda? – Jjunju.
38. Olulagala olusibwamu enkoko etwalibwa ku buko luweebwa linnya ki? – Olukeete.
39. Ensigo ezibeera ku mutuba Butana, Omuganda yaziwa linnya ki? – Entontogolo.
40. Kabaka ki eyadibya obusamize mu ba Kabaka ba Buganda? – Ssekabaka Ndawula.
41. Mu mulimi lw’abalunnyanja mulimu ekigambo ensenda, kitegeeza ki? – Ensenda ziba mpewo eziva mu mbiriizi z’eryato nga ziriwewa okudda gyerirala.
42. Oluusi endagala ezisibye oluwombo zikola entuuyo, entuuyo ezo ziweebwa linnya ki? – Empyoko.
43. Olugero: Musango gwantamu – Gubuulirwa n’omugenyi.
44. Abalunzi b’ente bakubirizibwa okufuuyira ente zaabwe waakiri buli wiiki omulundi gumu, lwaki? – Kikolebwa okutangira enkwa eziyinza okuzirwaza.
45. Okukuba ekintu oluku mu mutwe kisoko kitegeeza ki? – Kuwangula kintu.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K