Abazigu ababadde n'ebijambiya n'emiggo bayiingiridde amaka g’omwami wa Kabaka ow'essaza Busujju, Kasujju Mark Jjingo Byekwaso Kaberenge II, agasangibwa ku kyalo Mabuye mu town council ye Zigoti mu district ye Mityana....
Minister w'ebyenjigiriza, eby'obulamu ne wofiisi ya Nnaabagereka Owek Cotilda Nakate Kikomeko yebazizza Ssaabasajja Kabaka okusiima amuweereze nga minister we. Omukolo gubadde ku Wakissha Resource Centre e Wakiso, gwetabyeko ebikonge okuva...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozza ebijaguzo eby'emyaka 25, okuva ettendekero ly'Obwakabaka erya Buganda Royal Institute of Business and technical Education Mengo lweryataandikibwawo. Ebikujjuko bitongolezeddwa ku matikkira g'abayizi b'ettendekero...
Libadde ssanyu ssa mu Mbuga ya Bulange e Enkulu e Mengo, nga Katikkiro w'Obwakabaka bwa Eswatini Obukulemberwa Kabaka Muswati III, bw'abadde atuuka e Mengo. Katikkiro wa Eswatini Russell Mmemo Dlamini ayaniriziddwa...
Ekisaakaate mga Nnaabagereka 2024 ekimaze wiiki 2 kiggaddwawo Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ku ssomero lya Hormisdallen primary school e Gayaza. Omukolo guno gwetabiddwaako Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga,Nnaabagereka Sylvia...
Obwakabaka bwa Buganda bukakasizza nti bwakweddukanyiza Amasiro g'e Kasubi, oluvannyuma lwékitongole kyÁmawanga amagatte ekyebyenjigiriza nÓbuwangwa ki UNESCO ku mwaka oguwedde okugagya ku lukalala lwebifo ebiri mu bulabe. Kamalabyonna wa Buganda...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naalambula Omwalogwe ogwe Mulungu ogusangibwa ku Nyanja Nalubaale e Munyonyo, nasiima ekitongole ki Buganda Land Board olw'okukulakunya ekifo kino. Ssaabasajja Kabaka asiimye enteekateeka...
Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde ensasaanya y'ensimbi akawumbi Kamu n'Obukadde 500 (shs1.5b) ezaava mu nteekateeka ya Luwalo Lwange olw'omwaka 2023, nga zino zaasinga ku bukadde 900 ezaleetebwa abantu ba Ssaabasajja Kabaka...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye bannabitone okwetoloola ensi yonna okubitwala nga kyamuwendo eri obulamu bwabwe, n’okubifuula omulimu oguvaamu ensimbi. Katikkiro abadde ku Bulange mu mbuga enkulu e Mengo,...