Obwakabaka bwa Buganda bugumizza abantu ba Kabaka ababadde beewanise emitima olw’okuggyibwa kwa Buganda ku Map ya Uganda, nti abakola ebyo beenoonyeza byabwe era bannakigwanyizi abakotoggera Buganda. Obubaka okuva mu Bwakabaka...
Ekibinja ky'aakungu okuva mu Obusiinga bwa Rwenzururu nga bakulembeddwamu Amyuka Katikkiro wabwe Baritazare Kure Benson bagenyiwadde embuga mu Bulange e Mengo, okubaako ensonga zebeebuuza ku nkola y'emirimu mu nteekateeka gyebaliko...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli mwaka ng'akuza Amazaalibwaage, akoleramu ebintu eby'omuwendo era eby'amagero ebitava ku mitima gy'abantu , kyokka nga engeri gyabikolamu nayo esigala yewuunyisiza ddala. Ng'Obuganda bwetegekera...
Omulabirizi wa West Buganda agenda okuwummula Rt. Rev Henry Katumba Tamale n’abomunju ye bakiise embuga okuwoza olutabaalo olw’emyaka 8 n’emyezi musanvu mu buweereza bw’Obubulabirizi. Mu nsisinkano ne Katikkiro wa Buganda...
E Ssaza Kooki lifunye ekkakalabizo , abaami ba Kabaka mwebagenda okukolera emirimu gye. Ekifo kino kiweereddwayo omubaka mu Lukiiko lwa Buganda, era nga ye mumyuka owookubiri ow'omukwanaganya w'eSsaza Kooki, Owek ...
Ekijjulo kya Nnaabagereka Sylvia Nagginda ekiyitibwa The Queen's ball eky'omulundi ogw'okubiri kitongozeddwa. Kyakubaawo nga 02 May,2025. Nnaabagereka Sylvia Nagginda bw'abadde atongoza ekijjulo kino ategeezezza nti nga bwekyali mu 2024, ekijjulo...
Obwakabaka butaddewo bannamateeka abagenda okukola ku nsonga z' okutwala Minisita omubeezi ow'ettaka mu government eya wakati Sam Mayanja mu kkooti, olw'ebigambo byazze ayogera ku ttaka ebigenderera okutyoboola Buganda. Obwakabaka...