Omulabirizi wa West Buganda agenda okuwummula Rt. Rev Henry Katumba Tamale n’abomunju ye bakiise embuga okuwoza olutabaalo olw’emyaka 8 n’emyezi musanvu mu buweereza bw’Obubulabirizi.
Mu nsisinkano ne Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mengo, Bishop Katumba yeebazizza nnyo Katikkiro olw’enkolagana ennungi n’obuwabuzi bw’abawadde mu bbanga lyebabadde mu buweereza.
Yeebazizza Kamalabyonna lweyatongoza enteekateeka ya mmwanyi Terimba mu Bulabirizi bwa West Buganda ku mukolo ogwali mu Busumba bw’e Ssunga.
Agambye nti enteekateeka eno ekoze kinene nnyo okuyamba okuggya abantu ba Katonda mu bwavu n’okukendeeza ku nkaayana z’ettaka kubanga kati erisinga obunene kati likolerwako.
Mu ngeri yeemu Omulabirizi Katumba yeebazizza olw’enteekateeka z’ensiisira z’ebyobulamu ezitegekebwa Kabaka Foundation eziyamba okukebera n’okujjanjaba abantu ba Kabaka endwadde ez’enjawulo ku bwereere.
Katikkiro Mayiga yeebazizza Omulabirizi olw’obuweereza obw’ebibala mu myoyo n’emibiri gy’abantu ba Katonda, omuli n’okusitula enkulaakulana mu bantu n’okwogera ku biruma banna Uganda.
Katikkiro mu ngeri yeemu yeebazizza Omulabirizi olw’okuyigiriza ekigambo kya Katonda awatali kwawula mu bantu mu ddiini zaabwe.
Kamalabyonna ayanirizza Omulabirizi omulonde Ven Canon Gaster Nsereko n’amwagaliza obuweereza obulungi n’amusuubiza enkolagana ennungi okuva mu Bwakabaka.
Bishop Katumba Tamale agambye nti kikulu nnyo okumanya nti okukyusa obukulembeze tekiraga bunafu wabula kyabuntu okukkiriza enkyukakyuka omuntu n’atalinda kusindiikirizibwa.
Omulabirizi Katumba wakuwummula mu butongole nga 30 March,2025 lwebanaatuuza Omulabirizi omulonde Ven Canon Gaster Nsereko ku lutikko e Kako.
Omulabirizi mungeri yeemu aleetedde Katikkiro amantambuntambu.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K