BUGANDA Obukulembeze bwa Ssaabasajja Kabaka Mutebi II bwava wa Katonda – Obuganda bujaguzza emyaka 33 egy’amatikkirwage ku Watoto Church by Namubiru Juliet July 31, 2026
Buganda esse omukago ne UNICEF okwongera amaanyi mu nteekateeka ezitumbula eddembe ly’abaana by Namubiru Juliet November 12, 2025 0 Obwakabaka bwa Buganda busse omukago n’Ekitongole ky’Amawanga amagatte ekirafuubanira eddembe ly’Abaana ki UNICEF, okutema empenda ezigenderera okwongera okutumbula ddembe ly’Abaana. Mu nkolagana eno, Abaana mu Buganda abasoba mu bukadde... Read more
Emizannyo gy’ebitongole by’Obwakabaka bwa Buganda 2025 gigguddwawo – ekigendererwa ky’abaweereza okwongera okumanyagana n’okutumbula obumu by Namubiru Juliet November 8, 2025 0 Emizannyo gy'ebitongole by'Obwakabaka egy'omwaka guno 2025 jigyiddwako akawuuwo olwa leero nga 08 November, mu Lubiri e Mengo. Emizanyo mingi egivuganyizibwako muli Omweso, ludo, Volley ball, okusika omugwa, omupiira ogw'okubaka, ogw'ebigere... Read more
Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde embalirira n’ensaasaanya y’ensimbi ezaava mu misinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka aga 2025 by Namubiru Juliet November 4, 2025 0 Alipoota ekwata ku byava mu misinde gyÁmazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka 2025 eraze nti Obuwumbi 2.924 zezakuηaanyizibwa okuva nteekateeka ez'enjawulo, n'ekigendererwa eky'okusomesa n'okulwanyisa Mukenenya. Enteekateeka zonna zaasinga kuwagirwa ekitongole ekirwanyisa mukenenya... Read more
Buweekula ye Nnaantameggwa w’empaka z’Amasaza ga Buganda 2025 – Ssaabasajja Kabaka asiimye naabakwasa ekikopo n’ensimbi by Namubiru Juliet November 1, 2025 0 Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akwasizza bannantameggwa b'empaka z'omupiira gw'amasaza ga Buganda ab'omwaka guno 2025, ab'essaza Buweekula ekikopo kyebawangudde ne ceeke y'ensimbi obukadde 12. Ssaabasajja asiimye naaggalawo empaka zino,... Read more
Ssaabasajja Kabaka akomyewo okuva e Bungereza n’asiima okuggalawo empaka z’amasaza ga Buganda 2025 – mu kisaawe e Nakivubo by Namubiru Juliet November 1, 2025 0 Ssabasajja Kabaka Empologama ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri obuganda, ku mupiira ogw'akamalirizo oguggalawo empaka z’Amasaza ga Buganda mu Kisaawe e Nakivubo. Empaka z'omwaka guno ziggalwawo... Read more
Omubaka wa UNESCO Louise Haxthausen alambudde amasiro g’e Kasubi okumanya omulimu gookugazzaawo wegutuuse by Namubiru Juliet October 31, 2025 0 Omubaka w'ekitongole ky’Amawanga Amagatte ekirondoola Obuwangwa mu munsi yonna ki UNESCO, atwala amawanga g’Obuvanjuba bwa Africa Louise Haxthausen akiise embuga okwekenneenya omulimu gw'okuzzaawo amasiro g'e Kasubi wegutuuse. Louise Haxthausen atuula... Read more
Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka mu bujjuvu – ng’Ekelezia ejaguza emyaka 100 bukyanga lutikko y’e Lubaga etukuzibwa by Namubiru Juliet October 26, 2025 0 Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ayozaayozezza Ssaabasumba Paul Ssemogerere, abakristu ne bannaddiini olw'okutuuka ku lunaku, lutikko y'e Lubaga kwejagulizza okuweza emyaka 100 kasookedde etukuzibwa. Obubaka bwa Nnyinimu Beene busomeddwa... Read more
Ssaabasajja Kabaka alagidde abattaka okunnyikiza emisomo egikwata ku maka – okukendeeza ebizibu ebivaako obutabanguko by Namubiru Juliet October 24, 2025 0 Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll asiimye enteekateeka zonna ezikolebwa abataka zitambulire ku kubangula abazzukulu amakulu g'Amaka, okunnyikiza Obuwangwa n'ennono. Obubaka buno Ssabasajja Kabaka abutisse omumyuka asooka owa Katikkiro... Read more
Omusomo gw’ennono n’obuwangwa 2025 guguddwawo mu Lubiri e Mengo by Namubiru Juliet October 24, 2025 0 Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere akalaatidde abazadde bulijjo okubeera mu bulamu bw’abaana baabwe, babategeere ate n’okubaggyamu okutya n’okwetya ate n’okubasigamu empisa z’obuntu. Obubaka buno Ssaabasumba abutisse Vicar General... Read more
Omusomo gw’ennono n’Obuwangwa 2025 mu Lubiri e Mengo nga 24 October – ku mulamwa ogugamba nti Amaka y’emmerezo y’obuntu by Namubiru Juliet October 23, 2025 0 Omusomo gw'obuwangwa n'ennono gutegekebwa Olukiiko lwa Bajajja Abataka Abakulu b'Obusolya, nga gutegekebwa buli mwaka neekigendererwa ekyokujjukiza abantu ba Kabaka engeri entuufu Omuganda gyalina okweyisaamu. Ssentebe w'akakiiko akateesiteesi nga ono... Read more