Alipoota ekwata ku byava mu misinde gyÁmazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka 2025 eraze nti Obuwumbi 2.924 zezakuηaanyizibwa okuva nteekateeka ez’enjawulo, n’ekigendererwa eky’okusomesa n’okulwanyisa Mukenenya.
Enteekateeka zonna zaasinga kuwagirwa ekitongole ekirwanyisa mukenenya ki UNAIDS ne Airtel Uganda.
Emijoozi 120,000 gyegyatundibwa, so nga waliwo abantu abaafikkira tebaafuna mijoozi.
Obukadde bwa shs 422 n’Omusobyo zaakozesebwa okukubisa ebipande n’Okukola obulango bw’Emisinde gy’mazaalibwa ga Ssaabasajja, n’okubatusaako obubaka obwenjawulo obukwata ku Mukenenya.
Obukadde 800 n’Omusobyo bwakozesebwa mu kumanyisa abantu ba Kabaka ku bulabe obw’Obutabeera na buvunaanyizibwa bwakulwanyisa mukenenya nga bakola okusalawo okutuufu ku bulamu bwabwe.
Mwalimu okumanyisa abantu ba Kabaka ebifo ewajjanjabibwa mukenenya, ssaako n’Okutegeka Ebyooto ku mbuga z’Amagombolola 175 n’Amasaza 18.
Okutegeka ensiisira z’Ebyobulamu, okuteeka ebipande ku bisaawe mu mpaka z’Amasaza n’Emipiira gy’Ebika kwamalawo akawumbi kamu n’Obukadde 203.
Obukadde 21 n’Omusobyo Zagendera mu kusomesa Abakulembeze b’Ennono, Abavubuka n’Abasawo ku kulwanyisa Mukenenya , ssonga obukadde 29 n’emitwaalo 57 zaakozesebwa mu kugula ebikozesebwa mu kukebera Mukenenya.
Obukadde 53 n’Emitwaalo 70 bwakozesebwa mu kulondoola ensimbi n’okulaba nga zikola byezirina okukola, ate obukadde 72 n’Emitwaalo 23 nezikozesebwa abantu ba Kabaka abaali batuusa ebyetaago mu bitundu bya Buganda ebyenjawulo.
Okutunda Emijoozi, Okulamba abantu webaddukira n’Ebyokwerinda byaamalawo obukadde 200 n’Omusobyo, nga bino byonna byakolebwa olwenkolagana wakati w’Obwakabaka ne UNAIDS n’Abavujjirizi abalala.

Bwabadde ayanjula Entebya eno ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo, Omumyuuka owookubiri owa Katikkiro era nga ye muwanika w’Obwakabaka Past district Guvnor Owek.Robert Waggwa Nsibirwa, agambye nti ekiruubirirwa ky’Okulwanyisa Mukenenya kyongedde okulabika mu bantu ba Kabaka, naddala abavubuka nga bafaayo eri obulamu bwabwe naddala okujjumbira okwekebeza nga tebannegatta na muntu yenna.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza bannamikago bonna abatadde ensimbi mu Misinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka, Okulwaanyisa Mukenenya omuli n’Okusomesa abantu ku ngeri y’Okumumalawo.
Katikkiro mungeri eyenjawulo asabye Abasajja n’Abavubuka okweekomako nga beewala okutawaanya Abaana abawala.
Ssentebe wa Uganda Aids Commission Dr Ruth Ssennyonyi ategeezezza nti okusasaana kwa Mukenenya kwongedde okukendeera mu Buganda okuva ku bitundu 7.6% mu mwaaka 2020 okutuuka ku bitundu 6.3% mu mwaka 2024.
Agambye nti district eziwerako zongedde okukola obulungi mu kulwanyisa Mukenenya.
Ku lwa UNAIDS Dr. Jotham Mubangizi yebazizza nnyo Obwakabaka bwa Buganda olwenkolagana ennungi n’Okwoolesa Obweerufu mu nkola y’Emirimu, kyagambye nti kigguddewo essuula empya.

Omuwendo gwÁbakwatibwa Mukenenya nagwo gukendedde nga kati e Kyotera abantu ebitundu 13% bebafuna Mukenenya, e Kalangala bali ebitundu 12%, ate Buvuma ebitundu 4%.
Okujjumbira okumira eddagala eriweweeza Mukenenya nakwo kweyongedde nga e Kalungu kuli ku bitundu 91%, ate Wakiso Masaka ne Buvuma kuli ku bitundu 90%.
Abantu 16,210 bebakwatibwa Mukenenya buli lunaku mu Uganda, Wakiso erinako abantu 3,950, Kampala 1840, ate Buvuma abantu 120.
Bisakiddwa: Kato Denis












