Omubaka w’ekitongole ky’Amawanga Amagatte ekirondoola Obuwangwa mu munsi yonna ki UNESCO, atwala amawanga g’Obuvanjuba bwa Africa Louise Haxthausen akiise embuga okwekenneenya omulimu gw’okuzzaawo amasiro g’e Kasubi wegutuuse.
Louise Haxthausen atuula mu Kibuga Nairobi e Kenya.

Asisinkanye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mengo, naamunnyonyola ebikwata ku by’obuwangwa, ebyafaayo n’enkola y’emirimu mu Buganda.
Katikkiro amunnyonyodde nti essaaqa yonna amasiro gaakugibwako engalo gaggulibwewo eri abalambuzi abava munsi yonna.
Katikkiro era yebazizza ekitongole kya UNESCO, Japan ne bannamikago abalala abakwatizaako Obwakabaka, okuzzaawo amasiro ge Kasubi.

Katikkiro abategeezezza nti wadde omulimu gw’okuzzaawo amasiro gututte ekiseera ekiwera, nti naye waliwo ebintu bingi eby’obuwangwa n’ennono ebibadde birina okutuukirizibwa era nga gukwatibwa n’Obwegendereza.
Ennyumba Muzibwazaalampanga omugalamidde ba Ssekabaka ba Buganda mu masiro e Kasubi, yaakwata omuliro mu 2010 nesaanawo.
Omubaka wa UNESCO Louise Haxthausen mu bubakabwe , yeebazizza Obwakabaka bwa Buganda n’Abantu baabwo olwa kaweefube akoleddwa okuzzaawo Amasiro ebbanga lyonna okuva lwegatandika okuzzibwaawo.
Mu ngeri eyenjawulo abebazzizza olwokugazzaawo nga Buyita mu mitendera emituufu.
Louise n’Abagenyi abenjawulo abalala oluvannyuma boolekedde Amasiro ge Kasubi nebagalambulako.
Bisakiddwa: Kato Denis












