• Latest
  • Trending
  • All
Buweekula ye Nnaantameggwa w’empaka z’Amasaza ga Buganda 2025 – Ssaabasajja Kabaka asiimye naabakwasa ekikopo n’ensimbi

Buweekula ye Nnaantameggwa w’empaka z’Amasaza ga Buganda 2025 – Ssaabasajja Kabaka asiimye naabakwasa ekikopo n’ensimbi

November 1, 2025
Jacob Markson Oboth Oboth ye sipiika wa Parliament eye 12 – wakumyukibwa Thomas Tayebwa

Jacob Markson Oboth Oboth ye sipiika wa Parliament eye 12 – wakumyukibwa Thomas Tayebwa

May 25, 2026
Ssaabasajja Kabaka alagidde abantube okwongera okutema empeza eziyimirizaawo ekitongole kya Kabaka Foundation – abe California bajaguzza emyaka 30 bukyanga kitandikibwawo

Ssaabasajja Kabaka alagidde abantube okwongera okutema empeza eziyimirizaawo ekitongole kya Kabaka Foundation – abe California bajaguzza emyaka 30 bukyanga kitandikibwawo

May 25, 2026
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park – mubaddemu abakozi b’ekitongole ky’emisolo

Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park – mubaddemu abakozi b’ekitongole ky’emisolo

May 25, 2026
Giweze emyaka 60 okuva olubiri lwa Kabaka e Mengo lulumbibwa nga 24 May, 1966

Giweze emyaka 60 okuva olubiri lwa Kabaka e Mengo lulumbibwa nga 24 May, 1966

May 24, 2026
Arsenal the Gunners ekwasiddwa ekikopo kya Bungereza 2025/2026 – abawagizi baayo babinuka okwetoloola ensi yonna

Arsenal the Gunners ekwasiddwa ekikopo kya Bungereza 2025/2026 – abawagizi baayo babinuka okwetoloola ensi yonna

May 24, 2026
Engabi Ensamba Bannantameggwa b’empaka z’ebika by’Abaganda eza 2025 bawanduse ku kikopo kya 2026

Engabi Ensamba Bannantameggwa b’empaka z’ebika by’Abaganda eza 2025 bawanduse ku kikopo kya 2026

May 24, 2026
Ssaabasajja Kabaka asiimye enteekateeka ya Ttabamiruka wa Buganda bumu ayindira mu Germany

Ssaabasajja Kabaka asiimye enteekateeka ya Ttabamiruka wa Buganda bumu ayindira mu Germany

May 23, 2026
Ababaka 19 beebesowoddeyo okusaba kaadi ya NRM – okuvuganya ku kifo kya Sipiika wa parliament eye 12 n’omumyuka we

Ababaka 19 beebesowoddeyo okusaba kaadi ya NRM – okuvuganya ku kifo kya Sipiika wa parliament eye 12 n’omumyuka we

May 23, 2026
Katikkiro Mayiga akyaddeko ku kitebe kya Uganda mu Germany – abasabye okwongera okutunda eby’obuwangwa ku lukalala lw’ebyobulambuzi awamu n’okugaziya akatale k’emmwanyi za Uganda

Katikkiro Mayiga akyaddeko ku kitebe kya Uganda mu Germany – abasabye okwongera okutunda eby’obuwangwa ku lukalala lw’ebyobulambuzi awamu n’okugaziya akatale k’emmwanyi za Uganda

May 23, 2026
Government ya Uganda erangiridde nti ebbeeyi y’amafuta eyolekedde okweyongera okulinnya – agayingira eggwanga gafuuse ga buseere

Government ya Uganda erangiridde nti ebbeeyi y’amafuta eyolekedde okweyongera okulinnya – agayingira eggwanga gafuuse ga buseere

May 22, 2026
Ekitundu ky’oluguudo oluyita ku lutindo lwa Katonga kiggaddwa okumala ennaku 3 – abali ku bwangu abamu kati bayita Ssembabule-Gomba

Ekitundu ky’oluguudo oluyita ku lutindo lwa Katonga kiggaddwa okumala ennaku 3 – abali ku bwangu abamu kati bayita Ssembabule-Gomba

May 22, 2026
Aba NUP bawangudde ekifo kya Sipiika n’eky’Omumyuka wa KCCA ku kisanja ekya 2026-2031

Aba NUP bawangudde ekifo kya Sipiika n’eky’Omumyuka wa KCCA ku kisanja ekya 2026-2031

May 21, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Buweekula ye Nnaantameggwa w’empaka z’Amasaza ga Buganda 2025 – Ssaabasajja Kabaka asiimye naabakwasa ekikopo n’ensimbi

by Namubiru Juliet
November 1, 2025
in BUGANDA
0 0
0
Buweekula ye Nnaantameggwa w’empaka z’Amasaza ga Buganda 2025 – Ssaabasajja Kabaka asiimye naabakwasa ekikopo n’ensimbi
0
SHARES
95
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akwasizza bannantameggwa b’empaka z’omupiira gw’amasaza ga  Buganda ab’omwaka guno 2025, ab’essaza Buweekula ekikopo kyebawangudde ne ceeke y’ensimbi obukadde 12.

Ssaabasajja asiimye naaggalawo empaka zino, wadde ng’abadde yakatonnya mu ggwanga okuva e Bungereza gy’abadde okumala wiiki nnamba.

Buweekula ewangudde Ssingo ku fayinolo y’empaka eyindidde mu kisaawe e Nakivubo.

Kino kye kikopo kya Buweekula kyesoose okuwangula mu mpaka zino.

Ttiimu ya Buweekula ewangudde ekikopo mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2025 e Nakivubo ekubye Ssingo

Eggoolo ya Buweekula eteebeddwa omusambi Alex Talemwa mu kitundu ekyasoose, wabula nga wadde Ssinga eyolesezza omutindo omulungi mu kisaawe, tesobodde kugatta ku ggoolo eno.

Ssaabasajja Kabaka asiimye naakwasa Abazanyi ba Buweekula ekikopo, ate emidaali egyazaabu egyobuwanguzi jibakwasiddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.

Beene era asiimye neyeekubya ebifaananyi ne ttiimu yaabazanyi ba Buweekula abawangudde ekikopo kyabwe ekisoose, wansi w’obutendesi bwa Felix Ssekabuuza, Kirya Ibrahim ne Davis Nnono Ssozi.

Ttiimu ya Ssingo ezannye ne Buweekula ku fayinolo y’empaka z’amasaza ga Buganda eza 2025 mu kisaawe e Nakivubo

Katikkiro asoose kukwasa abazannyi ba Ssingo emidaali egya feeza, olwokukwata ekifo ekyokubiri.

 Kyaggwe nayo ekwasiddwa emidaali egyekikomo olwokukwata ekifo ekyokusatu nga bano baasoose okukuba ttiimu ye ssaza Bugerere mu  kyokulwanira ekifo ekyokusatu.

Aba Kyaggwe emidaali jibakwasiddwa Omumyuuka asooka owa Katikkiro, Owek Prof Twaha Kaawaase Kigongo.

Katikkiro wa Buganda, Owek Charles Peter Mayiga, mukwogerako ne bannamawulire, atenderezza omutindo omulungi ogwoleseddwa mu mpaka z’omwaka guno, n’empisa abazannyi zeboolesezza.

Minister waabavubuka n’emizanyo mu Bwakabaka, Owek Ssalongo Robert Sserwanga, yebazizza abateesiteesi, n’abazannyi b’empaka zino, zaagambye nti buli mwaka zeyongera omutindo.

Akulira Airtel Uganda, Ali Balunywa, abavujjirizi abakulu abeempaka zaamasaza ga Buganda, agambye nti ebyoleseddwa mu mpaka zino biwa esuubi.

Abatendesi ba ttiimu z’amasaza z’ombiriri okubadde Bassy Ssemuyaba ne Felix Ssekabuuza, bakiriziganyizza neebivudde mu mpaka nebawera okwongera okutereeza mu kiseera ekiddako.

Omuduumizi wa ttiimu ye Ssaza Ssingo, Kayongo Shaban agambye nti wadde bakubiddwa bafubye okuwa abawagizi baabwe essanyu, nebeewera okudda omwaka ogujja 2026 naamanyi.

Kalema Jimmy omusambi wa Buweekula yaalondeddwa ng’omusambi asinze omutindo omulungi mu mpaka z’omwaka guno era yaasinze okuteeba ggoolo ennyingi zibadde goolo 7.

Kalema abuulidde CBS nti   empaka zaamasaza azisiibudde, oluvannyuma lw’okwegatta.ku ttiimu ya Uganda premier League eya Kitara FC.

Olukiiko olwategese empaka zaamasaza goomwaka guno, lulonze omukwasi wa ggoolo ya Ssingo, Byaruhanga Joel ng’omukwasi wa ggoolo asinze omwaka guno

Ttiimu ya Ssese ye tiimu esinze okwerwanako okwesitula mu mpaka z’omwaka gun.

Tiimu y’Essaza Kkooki ye ttimu esinze empisa.

Omumyuuka w’omwami w’essaza Kyaggwe, Matovu Vincent, yawereddwa engule ey’omwami wa Kabaka asinze okujjumbira okulaba emipiira gy’empaka z’omwaka guno.

Omusambi Ogubeco Paliyo, owa ttiimu ya Buweekula, yalondeddwa ng’omusambi asinze banne mu mupiira ogw’akamalirizo wakati wa Ssingo ne Buweekula.#

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Jacob Markson Oboth Oboth ye sipiika wa Parliament eye 12 – wakumyukibwa Thomas Tayebwa
  • Ssaabasajja Kabaka alagidde abantube okwongera okutema empeza eziyimirizaawo ekitongole kya Kabaka Foundation – abe California bajaguzza emyaka 30 bukyanga kitandikibwawo
  • Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park – mubaddemu abakozi b’ekitongole ky’emisolo
  • Giweze emyaka 60 okuva olubiri lwa Kabaka e Mengo lulumbibwa nga 24 May, 1966
  • Arsenal the Gunners ekwasiddwa ekikopo kya Bungereza 2025/2026 – abawagizi baayo babinuka okwetoloola ensi yonna

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist