Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asitudde, ayolekedde America mu kibuga Boston okusisinkana abantu ba Kabaka abawangaalira mu America ne Canada mu lukuηaana lwa Buganda Bumu North American Convention, olutandika...
Ekitongole kya Buganda ki Enkuluze kisse omukago ne Centery bank okusiimba emiti mu lubiri lwa Kabaka olwe Nkoni mu ssaza Buddu. Ebika by'emiti ebyenjawulo bigenda kusimbibwa era birambibweko amannya gaabyo...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw'Obwesigwa bwamutaddemu kko nÓkuluηηmizibwa ku nsonga ezenjawulo kati emyaka 12 ng'akutte Ddamula. Katikkiro...
Leero ennaku z'omwezi 12 May,2025, giweza emyaka 12 beddu, bukyanga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiima nga 12 May, 2013 naayatula erinnya lya Charles Peter Mayiga naamukwasa Ddamula okubeera...
Minister w'amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w'Obwakabaka, Owek Israel Kazibwe Kitooke afulumizza enteekateeka y'okutereka Nnaalinnya Gertrude Tebattagwabwe. Ku Friday nga 09 May,2025; Omubiri gwa kugyibwa mu funeral home ku ssaawa...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye emirimu amatendo egikoleddwa abadde omuwerezaawe Ambassador William Bill Matovu Kaboga, naddala mu kaweefube w'okusitula embeera z'ebyobulamu. Mu bubaka Kalalankoma bwatisse Katikkiro wa...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde Abavubuka abegwanyiza obukulembeze kyokka nga tebagambwako nti bano bamala biseera , naabawa amagezi okukkiriza bawabulwa, ate era babeere beetegefu okuyiga. Abadde asisinkanye abakulembeze...