Katikkiro Charles Peter Mayiga akoowodde banna Uganda okujjumbira enteekateeka y’okwewandiisa mu kitongole kya NIRA bazze buggya endagamuntu zaabwe, kibayambe obutatawaanyizibwa nga bagenze okufuna obuweereza obwenjawulo.
Katikkiro n’omukyala bamalirizza okuzza obuggya endagamuntu zabwe nga basinziira mu Bulange Mengo aba NIRA webabasanze.

Katikkiro agambye nti kyabuvunaanyizibwa buli munna Uganda okubeera omuwandiise mu government kubanga kyekiwandiiko ekitongole ekirambika ebimukwatako nga munnauganda.
Mu ngeri yeemu agambye endagamuntu eyamba ne mu kutambula okusala ensalo naddala mu mawanga g’obuvanjuba bwa Africa, saako okutuusibwako obuweereza obwenjawulo mu bitongole ebitali bimu.

Mu kusooka aba NIRA baawandiisizza Nnaabagereka Sylvia Nnagginda naye n’azza buggya endagamuntu ye.
Ssenkulu wa NIRA Rosemary Kisembo akulembeddemu ekibinja ky’abakungu ba NIRA, asabye Kamalabyonna okwongera ku ddoboozi lye eri banna Uganda bajjumbire enteekateeka eno kubanga omuwendo gwabaakeewandiisa gukyali mutono.
Mu mbeera yeemu Kisembo yennyamidde ne ku muwendo gw’abavukuba abakyagaanye okwewandiisa okufuna endagamuntu nti kubanga ate bbo tebajjumbiriddeeko ddala.
Kisembo era agambye nti waliwo banna Uganda abagezaako okulimbalimba abakola omulimu gw’okuwandiisa nga babawa ebibakwatako ebikontana n’ebiri ku ndagamuntu zaabwe enkadde, n’agamba nti abakikola basaana okweddako kubanga babazuula.
Banna Uganda obukadde bubiri mu emitwalo ataano bebaakeewandiisa okufuna n’okuzza obuggya endagamuntu zaabwe.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.