Omwaka A ogwa Mmwanyi Terimba 2025/2026 guguddwaawo mu butongole n’Emiramwa egiwerako, omuli ogukwata ku kusoosowaza abakyala kwebasaanga mu kulima emmwanyi n’Okukozesa technology.
Bwabadde atongoza omwaka A ogwa Mmwanyi Terimba ku kyaalo Nnabusolo ekisangibwa mu gombolola ye Bulera mu Ssingo mu Maka ga Vincent Ndibwaami, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Abalimi b’Emwaanyi okunyweerera mu Bwegassi, okunyweza Omutindo gwazo.
Katikkiro yebazizza abantu ba Kabaka mu Buganda naabo abagenzeeko emitala w’Amayanja nebakomawo ate nebadda mu Kulima Emmwanyi nti bawulize eri Ssaabasajja, kyokka n’akiikira Ensingo ababulankanya ssente za bankuba kyeekyo nebabafiiriza.

Katikkiro era asinzidde Myanzi mu Kassanda bwabadde atongoza ekyuma ekisunsula Emmwanyi n’Okugatta abeegassi wansi wa Myanzi coffee farmer’s savings and credit co-operative society limited ekikulemberwa Omulimi John Muwonge ne banne, naabasaba okuttukiza enkola y’Obumu mu by’Obulimi.
Minister w’Ebyobulimi,Obuvubi n’Obweegassi Owek Hajji Amiisi Kakomo agambye nti obujjumbize mu Kulima Emmwanyi n’Emmere mu Bantu ba Kalalankoma, byeyongedde era biwa essuubi okwongera okulaakulanya Obwakabaka.
Minister wa government ez’ebitundu n’Okulambula kwa Kabaka Owek Joseph Kawuki asabye abantu b’Omutanda Obutakoowa kugenda mu Misomo okuyiga ebintu ebyenjawulo n’Okugabana amagezi n’abalala.
Omulabirizi we Mityana Kitaffe mu Katonda James Bukomeko Ssalongo asabye buli atadde ekiragiro Kya Kabaka mu Nkola naalima Emmwaanyi okulwanyisa Obubbi bwazo ,okukuuma Omutindo n’Okwaagaza abalala okuzirima.

Omwami wa Ssaabasajja Kabaka amukulembererako essaza Ssingo Mukwenda Deo Kagimu yebazizza Obwakabaka olwokwagaliza abantu babwo enkulaakulana.
Abakulembeze ku mitendera egyenjawulo mu Ssingo omuli ababaka mu Lukiiko lw’eggwanga Olukulu abakulembeddwamu Omubaka Omukyala owa District ye Mityana Joyce Baagala Ntwaatwa, Omubaka wa Kassanda South Kabuye Frank ne Flavia Naabagabe Kalule bekokkodde ekibba Ttaka ekisukkiridde mu Ssingo,nga kikulembeddwaamu abantu abeeyita abaweereza mu Maka g’Obwa president.
Katikkiro mu kusooka alambudde abalimi b’emmwanyi abakulembeddwamu Omulabirizi we Mityana Kitaffe James Bukomeko Ssalongo, Omulimi weMwaanyi Kiyinji Simon ku kyalo Kakungube mu muluka gwe Kyannamugera, Omulimi Edward Kalema ne Juliet Nabateregga eyaakava ku kyekyo.
Katikkiro awerekeddwako Minister w’amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe Kitooke, Ssentebe wa Boodi ya BUCADEF Omuk Dr. Ben Ssekamatte n’Abantu abalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis