Obwakabaka bwa Buganda bwanjula leero nga 16 June,2025 embalirira yaabwo ey’omwaka 2025/2026 , mu lukiiko lwa Buganda mu Bulange e Mengo.
Yakutambulira ku mulamwa ogugamba nti “Okusembeza Omuvubuka mu kuteekateeka n’Okussa mu nkola pulogulaamu z’Obwakabaka n’Okuziganyulwamu Awamu” .
Yakusomwa Omuwanika w’Obwakabaka era nga ye mumyuuka owookubiri owa Katikkiro Owek Robert Waggwa Nsibirwa.
Embalirira y’Omwaka gw’Ebyensimbi ogugwako 2024/2025 ebadde ya Buwumbi bwa Uganda 257, songa ey’Omwaka 2023/2024 yali ya buwumbi 209.#