Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza emipiira gy’amasaza ga Buganda ez’omwaka 2025.
Omukolo guyindidde mu Bulange e Mengo.
Buddu bwakubefuka ne Gomba ku mupiira oguggulawo empaka ku Lwamukaaga nga 21 June,2025 mu Kitovu Sports Arena.
Katikkiro asabye abateesiteesi b’empaka okubeera abeesimbu nga batambuza emipiira gino n’empisa mu bazannyi n’abawagizi, okusobola okutwaala empaka zino mu maaso kubanga guno mulimu sikinyumo.
Kattikiro asabye bonna abakwatibwako okwewala ebikolwa by’eddogo mu mipiira, nagamba nti eyo enkola ya kijega kubanga ekiwanguza omupiira mpisa era n’awa abaziddukanya okwewala bannabyafuzi okusingira ddala mu kiseera kino.
Asabye abateesiteesi abakulemberwa Hajji Sulaiman Ssejjongo nebaakola nabo okukola omulimu omuyonjo ogwoleka ekitiibwa ky’Obwakabaka.
Buddu yerina ekikopo ky’Amasaza ekya 2024.