Omuwanika wa Buganda era nga ye mumyuka owookubiri ow’Obwakabaka bwa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ayanjudde embalirira y’Obwakabaka bwa Buganda ya Buwumbi 305,502,820,947.
Ensimbi zino zisuubirwa okuva mu nsimbi ezisasulwa ku ttaka lya Buganda mu nkola eya Busuulu, Envujjo, n’ekkanzu, ensimbi ezibaanjibwa government eya wakati, ekimu eky’ekkumi okuva mu baweereza ba Buganda, ebibiina by’obwegassi, bannamikago, Mmwanyi Terimba, ebisale by’amasomero, eby’empuliziganya n’amawulire, satifikeeti za Buganda n’oluwalo n’ebirala.
Embalirira eno ezze yeyongerako okulinnya mu bbanga lya myaka etaano egy’omuddiriηanwa.
Embalirira eno eya 2025/2026 esomeddwa mu lukiiko olukubiriziddwa Sipiika Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, nga yeyongeddeko obuwumbi 48 okuva ku y’omwaka oguwedde 2024/2025 ey’obuwumbi 257.
Embalirira yakutambulira ku mulamwa ogugaba nti “Okusembeza omuvubuka mu kuteekateeka n’okussa mu nkola program z’Obwakabaka okuziganyulirwaamu awamu”.
Owekitiibwa Waggwa Nsimbirwa ategeezezza nti mu mwaka gwebyensimbi ogujja abavubuka bali ku mwanjo, nga Buganda yakuzimba ekifo ekimanyiddwa nga Buganda Digital Hub okutendaka abavubuka abasoba mu 5000 okukozesa ebyuma bikalimagezi okwetandikirawo emirimu.
Obwakabaka era bugenda kusomesa abavubuka 10,000 ku ngeri y’okulima emmwanyi nga bano bakweyambisibwa mu masaza egenjawulo okuyambako abo abetaaga obuweereza omuli okulima, okukungula saako okwanika emmwaanyi zibeere n’omutindo.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayanjulidde olukiiko emirimu egyenjawulo egikoleddwa mu bwakabaka mu bbanga ery’omwaka omulamba, era nalutegeeza nti Ssaabasajja Kabaka yagenze bweru w’eggwanga abasawo okwongera okumwekebeggya.
Ayanjudde n’olukiiko olugenda okuteeteeka amatikkira ga Beene ag’omwaka guno 2025, aganabaawo nga 31 July, nga lukulemberwa Owek. Ahmed Lwasa omumyuka wa sipiika w’olukiiko.
Mu ngeri yeemu akubirizza abalimi b’emmwanyi obutaggwamu ssuubi wadde ng’a waliwo ebiwulirwa nti ebbeeyi yaazo yeyongera okukka.

Ebiteeso ebiyisiddwa olukiiko
Olukiiko lusiimye okuwulira nti Ssaabasajja Kabaka yagenze emitala w’amayanja abasawo be okwongera okumwekebeggya.
Olukiiko era lusanyukidde enteekateeka y’Okulambula abantu ba Kabaka ababeera wabweeru wa Uganda, ekibayamba okwongera okugoberera ebikolebwa Obwakabaka, Okuziwagira n’Okukuuma emirandira n’Obutaka bwabwe.
Olukiiko lusanyuse okuweebwa Entebya y’Emirimu egikoleddwa mu mwaka gw’Ebyensimbi 2024/2025, nga yeesigamiziddwa ku mirimu egyalambikibwa.
Olukiiko luyisizza Embalirira y’Ebyensimbi ey’Obwakabaka ey’Omwaka gw’ebyensimbi 2025/2026 ya Buwumbi bwa shs 305, nga ebiteeso bino byanjuddwa minister w’Ebyobulimi ,Obuvubi, n’Obweegassi Owek Hajji Amiisi Kakomo, nga y’akiikiridde minister w’Olukiiko ne cabinet Owek Noah Kiyimba.