Nambaziira Joan ow’essaza lya Buluuli yaawangidde empaka za Miss tourism Buganda ez’omwaka guno 2025, alangiriddwa ku Ssaawa munaana ez’ekiro, n’akwasibwa ne Kapyata w’emmotoka gy’agambye nti egenda kusitula nnyo Obulamubwe.
Omwami wa Kabaka ow’eSsaza Buluuli Kimbugwe Ssonko Robert Kaboggoza agambye nti obuwanguzi buno busitudde nnyo essaza lyabwe, neyebaza Obwakabaka bwa Buganda okussaawo ebintu nga bino ebyenkizo ebikumaakuma abantu ba Kabaka ab’emitendera egyenjawulo.
Abawala ababoobevu okuva mu masaza ga Buganda gonna 18 boolesezza ebitone, obuwangwa, n’obuyiiya mu bintu ebyenjawulo, mu kuvuganya kw’okulondako asiinze banne mu mpaka za Nnalulungi wa Buganda ow’ebyobulambuzi.
Empaka ziyindidde ku Hotel Africana mu Kampala.

Abawala boolessa emisono gy’engoye ez’enjawulo, amazina amaganda, obuyiiya n’obutetenkanya n’ebirala.
Abawala bonna boolesezza okumanya kw’ebikwata mu buvo n’obuddo bwabwe nga balanya.

Abakulu b’ebika Omutaka Mutesaasira Keeya Namuyimba ow’Engo,Omutaka Kakande Kibirige Kasujja Sheba ow’e Ngeye n’Omutaka Mubiru James Ziikwa ow’e Mmamba bagwetabyeko.
Nabagereka Sylvia Nagginda asabye abazadde okwongera okuwa abaana baabwe obuwagizi bwonna bwebetaaga kibasobozese okwetaba mu mpaka ez’enjawulo ezibayamba okubaziimba n’okubayigiriza obuntu bulamu.
Nabagereka obubaka bwe abutisse Owekitiibwa Cotilda Nakate Kikomeko amukiikiridde ku mukolo guno ogwawomeddwamu omutwe ekitongole ky’ebyobulambuzi mu Buganda ki Buganda Heritage and Tourism Board.
Minister w’ebyobuwangwa N’enono mu Bwakabaka bwa Buganda Owekitiibwa Anthony Wamala yeebazizza nnyo abantu abazze mu bungi ku Hotel Africana, okuwagira empaka zino.
Owekitiibwa Wamala era agambye nti kino kiboongedde amaanyi era Bagenda kwongera ebinnonogo mu nteekateeka eno ky’ongere okusikiriza abaana abawala okwettanira empaka zino.
Akiikiridde omukubiriza w’olukiiko lw’abataka, omutaka w’ekika ky’Engo omutaka Muteesaasira Keeya Namuyimba Tendo asabye abategesi b’empaka zino okulowooza ne ku mwana ow’obulenzi.
Ssenkulu wa Buganda Heritage and Tourism Board Nsubuga Najib agambye nti bagenda kulondoola bannalulungi byebakola mu masaza gabwe kibasobozese okutuukiriza ekigendererwa kyabwe eky’okutumbula eby’obulmbuzi.
Omukolo guno gwetabiddwako ba minister ba Buganda ab’enjawulo, abaami bakabaka ab’Amasaza, Bajjajja abataka abakulu ab’obusolya n’abantu abalala bangi.
Bisakiddwa: Ssekajiija Augustus
Ebifaananyi: MK Musa