Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Abavubuka mu Masomero n’Amatendekero okukulemberamu kaweefube w’Okutaasa Obutondebwensi nga bajjumbira emirimu gya Bulungibwansi.
Katikkiro abadde atongoza Omusomo gw’Abavubuka ba Buganda, olugenderera okutaasa Obutondebwensi, guabadde ku ssomero lya Exodus College School Wakiso mu Busiro.

Katikkiro agambye nti Obutondebwensi y’Ensibuko y’Obulamu Obulungi, kwekusaba Abakulira Amasomero okukwasizaako abayizi mu lutalo luno.
Katikkiro asabye Abavubuka okukozesa Obugunjufu, babeere nga baawula Kasasiro avunda naatavunda , are bakozese bulungi Kasasiro avunda okukolamu Nnakavundira nebirala.

Minister wa Bulungibwansi, Obutondebwensi ,Amazzi n’Ekikula ky’Abantu Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo Nassejje, agambye nti Obwakabaka bwasalawo okuttukiza Olutalo lw’Okuzzaawo Obutondebwensi obutyoboolebwa, nga government ya Beene eyita mu Masomero omuli abayizi abalumirirwa Ensi yaabwe.
Owek Mariam Mayanja akkaatirizza nti Okusimba Emiti kwakwongera okwettanirwa Abavubuka mu Masomero , ng’akabonero k’Okutaasa Ensi.
Omwami wa Ssaabasajja akulembera essaza Busiro Ssebwaana Charles Kiberu Kisiriiza, yeebazizza Abakulira Amasomero agenjawulo Abawadde Abayizi Omukisa okwetaba mu Musomo guno n’okukiika mu lukiiko lw’abavubuka olw’obutondebwensi olukulemberwa Aminah Nassali.

Omutandisi w’Essomero lya Exodus college school Wakiso Wasswa William , yebazizza Obwakabaka olwokukulemberamu entekateeka ezikyuusa Obulamu bw’Abantu ,nga buyita mu Nkola ya Mwaanyi Terimba, Bulungibwansi n’enteekateeka endala nyingi.
Agamu ku Masomero ageetabye mu Omusomi guno mubaddemu,St Augustine college Wakiso, Mengo Senior school, Exodus college school naamalala.
Bisakiddwa: Kato Denis