Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayanjudde akakiiko akagenda okukulemberamu enteekateeka z’amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwe 32, nga kakulirwa omumyuka wa sipiika w’olukiiko lwa Buganda Owek. Ahmed Lwasa.
Abalala ye Owek Israel Kazibwe Kitooke, Owek Naoh Kiyimba Kaggo Hajji Ahamed Magandaazi n’omukungu Josephine Nantege.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yatuula ku Nnamulondo nga 31 July, 1993, era nga gakuzibwa buli nga 31 July.
Emikolo gy’amatikkira ag’omwaka guno 2025 gyakutambulira ku mulamwa ogugamba nti “Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II engeri gyakubirizzaamu abasajja okuba abasaale mu kulwanyisa mukenenya ”
Okusaba okukulu okw’okwebaza Katonda kwakuyindira ku muzikiti e Kibuli.
Katikkiro abadde ayogerako eri abakiise b’olukiiko lwa Buganda omusomeddwa embalirira y’omwaka 2025/2026, naagumya abantu ba Buganda nti boongere okulima emmwanyi mu bungi, wadde nga waliwo ebigambibwa nti ebbeeyi yaazo esse.
Katikkiro agambye nti emmwanyi nebweziba nga zikeendedde ebbeeyi tekigaana muntu kuzirima nti kubanga buli bbeeyi yonna wetuukira omulimi asigala aganyulwa, wabula ayo atazirimye nebwezirinnya oba nezika asigala mabega olw’obutaba na kyatunda.#