Ab’ekitongole kya government ekivunaanyizibwa ku kugaba Endagamuntu basiibye mu Bulange e Mengo okuwandiisa abaweereza mu bitongole bya Buganda n’okuzza obuggya endagamuntu zaabwe mu nteekateeka empya ey’okuzitereeza n’okwongeramu “obukuumi”
Bakulembeddwamu avunaanyizibwa ku kulondoola emirimu mu kitongole Steven Robert Kasumba ng’ono yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja olw’okukkiriza Obwakabaka okukulemberamu kaweefube w’okukunga banna Uganda okuzza obuggya ebiwandiiko byabwe bafune endagamuntu empya.

Kasumba agambye nti ku lunaku olusooka mu Bulange bawandiisizza abaweereza abasoba mu 300, nga bakulembeddwamu Omulangira David Kintu Wassajja, ba minister ne ba Ssenkulu b’ebitongole n’abalala.
Agambye nti baabadde basazeewo okuwandiisa abakozi okuala olunaku lumu lwokkam wabula olw’omuwendo gw’abantu abajjumbidde enteekateeka eno, baakukomawo enkya nga 11 June,2025 bawandiise abasigalidde n’abalala.
Minister wa government ez’ebitundu, Okulambula kwa Kabaka era avunaanyizibwa ku bantu ba Buganda ebweru Owek. Joseph Kawuki agambye nti kyabuvunaanyizibwa nnyo banna Uganda bonna okwettanira enteekateeka eno bafune endagamuntu kubanga kaakano kisaanyizo kikulu nnyo mu buweereza bwonna.

Enteekateeka eno ey’okuwandiisa n’okuzza omuggya endagamuntu, yaakumala ebbanga lya myezi mukaaga okwetooloola eggwanga.
Mu ngeri yeemu abantu abanaajja mu mwoleso gwa a CBS PEWOSA Nsindikanjake mu Lubiri e Mmengo okuva nga 17 okutuuka nga 22 June,2025, aba NIRA baakubeerawo okuwandiisa abantu abanajja n’endagauntu