Olukiiko olwekenneenya enkola y’emirimu ku magombolola ne ku Masaza ga Buganda gonna, katandise okulambula emirimu egikolebwayo, n’okuwabula ku bisaanye okukolebwa okusitula omutindo.
Lwetegereza enkwanaaganya n’enkola y’emirimu ku mbuga y’essaza, n’enkola y’ebitongole byonna ebiri ku Ssaza, okugoberera amateeka, okukuuma ebiwandiiko, obuyiiya, obwerufu, enkozesa ya Technologia ow’omulembe Omutebi n’ebirala, n’obuwulize eri Nnamulondo.
Mulimu okwekenneenya entegeka y’ebikolebwa, enkwata y’ensimbi, obujjumbize bw’abaakwasibwa obuvunaanyibwa, ensengeka y’ebikolebwa, enteekateeka y’omwaka n’ebirala bingi.
Okusinziira ku ssentebe w’olukiiko luno Godfrey Male Busuulwa , omulimu guno gwatandise ku monday nga 30 June,2025 baatandikidde mu Ssaza Bulemeezi.
Akinogaanyizza nti baakugenda ne ku mutendera gw’eggombolola nga nayo bagenda kukolayo omulimu gwe gumu.
Agambye nti omulimu guno guluubirira okutumbula enkola y’emirimu, entambula yagyo wamu n’okukulaakulanya ebitundu bya Buganda mu nkola ey’obwerufu.
Asabye abaami ba Kabaka abali mu bitundu ebigenda okukolwamu omulimu guno okutambula obulungi n’olukiiko luno nti kuba kyerukola kiyamba okutwala mu maaso abitundu ebyo.
Essaza eriwangula empaka zino lye litegekerwamu olunaku lwa government ez’ebitundu wamu ne Bulungibwansi olw’omwaka ogwo.
Olukiiko luno ku lwokusatu nga 02 July, lwolekera Mawokota and ku lwokuna luli Buddu so nga ate ku lwokutaano Kabula, Kkooki ne Ssese.
Kyaggwe lye Ssaza erikyasiinze okweriisa enkuuli mu nkola y’emirimu, yakawangula engabo emirundi ebiri.
Okusinziira ku minister atwala government ez’ebitundu Owek. Joseph Kawuki, essaza erinaakira amalala era lyakuweebwa engabo n’ebirabo ebirala bingi.#