Abayimbi, abategesi b’ebivvulu, bannakatemba ne bannabyabufuzi bazze mu bungi mu kooti ye Makindye, omutegesi w’ebivvulu Abbey Musinguzi amanyiddwa nga Abitex bwakomezeddwawo mu kooti okuwulira okusaba kw’okumweyimirira.
Abitex aleeteddwa ne Francis Elvis Jjuuko eyali kalabaalaba w’ekivvulu ekyali ku Freedom City e Namasuba mu Kampala omwafiira abantu 11.
Bino byaliwo mu kiro ekimalako omwaka 2022 okuyingira 2023.
Abitex ne Jjuuko buli omu yagguddwako emisango egisoba mu 10 egyekuusa ku bulagajjavu,obwaviirako akanyigo akaafiiramu abantu nga bagenda okulaba ebiroliro.
Munnamateeka Lord mayor Ssalongo Erias Lukwago y’abawolereza.#