Sports Club Villa Jogoo Ssalongo esitukidde mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League season ya 2023/24, oluvannyuma lw’okuwangula club ya NEC ku goolo 2-0.
Omupiira guno guno guzannyiddwa mu kisaawe kya Omondi Stadium e Lugogo.
Ggwetabiddwako ne Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga era nga muwagizi wa Villa Jogoo.
Goolo ezituusizza Villa Jogoo Ssalongo ku buwanguzi ziteebeddwa Charles Lwanga ne Hakim Mutebi.
Villa Jogoo ewangudde liigi eno oluvanyuma lw’ebbanga lya myaka 20 nga tewangula kikopo kino, ebadde yasemba okukiwangula mu 2004.
Villa Jogoo Ssalongo ewangudde ekikopo kino omulundi gwayo ogwe 17, era ekikopo kino ekiwangulidde ku bubonero 57.
Vipers ekutte kyakubiri n’obubonero 56.
BUL kyakusatu n’obubonero 56, Kitara ekutte kyakuna n’obubonero 54.
Club ya KCCA ekutte kya 5, NEC kya 6, Maroons kya 7, URA 8, Bright Stars 9, Express 10, Mbarara City 11, Wakiso Giants 12 ate UPDF ekutte kya 13.
Club okuli Busoga United mu kifo ekye 14, Gaddafi mu kifo ekye 15 ne Arua Hill mu 16 basaliddwako okuddayo mu kibinja kyawansi ekya FUFA Big League.
Emipiira emirala egizannyidwa, BUL ekubye Busoga United goolo 3-0, Vipers ekubye Mbarara City goolo 4-1.
Maroons egudde maliri ne KCCA goolo 1-1, Kitara ekubye Gaddafi goolo 3-0, URA egudde maliri ne Bright Stars goolo 1-1 ate nga UPDF ekubye Wakiso Giants goolo 1-0.
SC Villa Jogoo Ssalongo okuwangula liigi eno, kati egenda kukiikirira Uganda mu mpaka za Africa eza CAF Champions League season ejja.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe