Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, kikakasiza nti abawagizi bagenda kuyingirira bwerere okulaba omupiira ttiimu y’eggwanga eyabawala abatasusa myaka 17 eya Teen Cranes bweneeba ettunka ne Zambia mu mpaka za FIFA U17 Women’s World Cup Qualifiers.
Omupiira guno gugenda kuzannyibwa mu kisaawe kya St Mary’s e Kitende enkya ku Friday 17 May,2024 ku ssaawa 10 ez’olweggulo.
Omupiira guno gwaluzannya olw’okuddingana, nga ogwasoose e Lusaka, Zambia yawangudde Uganda ku goolo 2-0.
Omupiira guno gwe mwetoloolo ogw’okusatu, era Teen Cranes etendekebwa Sheryl Botes Ulanda eri munkabi ku Cranes Paradise Hotel e Kisasi.
Teen Cranes okutuuka ku mwetololo guno ogw’okusatu yawandulamu Cameroon ate Zambia yawandulamu Tanzania.
Omuwanguzi wakati wa Uganda ne Zambia ajja kusisinkana n’omuwanguzi wakati wa Morocco ne Algeria ku mutendera ogusembayo ogw’okusunsulamu.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe