Kibadde kijjobi mu kibangirizi kya St.Peter’s Square mu nsi entukuvu Vatican, abalamazi abaavudde mu lya klezia erya Kiyinda Mityana bwebafunye omukisa okusisinkana Ssaabalangira wa eklezia bwabadde abalamusaako mu butongole n’okubaaniriza mu nsi gyakulembera.
Abalamazi bano abaawerera ddala 103 baakulemberwamu bwana mukulu wa Mityana Cathedral Fr. Stephen Lusiba ne Ssaabakiristu era nga ye minister wa Buganda owa government ez’ebitunfu Owek Joseph Kawuki.
Ebirala ebikyamudde abalamazi kwekutuukako ku ntaana y’omutuukirivu papa John Paul II.
Bagenda kumalayo wiiki namba, baasitula nga 13 May,2024.#