Bya: Omulangira Edward Fredrick Walugembe
Obwakabaka bwa Buganda bulina enkolagana n’Obwa Ashanti okuviira ddala ku mulembe gwa Ssekabaka Mwanga II ne Kabaka wa Ashanti mu Ghana ayitibwa Prempeh I.
Bombi bano baatawannyizibwa nnyo abazungu era nebabasibira mu bizinga bye Seychelles Islands.
Abazungu baakimanya nti Abaddugavu bambazuulu, ate bagala nnyo bakabaka babwe, anti buli webabasibiranga, nga batambula okutuusa bwebatuukayo.
Wabula abawandiika ebyafaayo balaga nti naye omulembe ogwo abaddugavu bangi baali batya nnyo amazzi, n’Olwekyo abazungu kwekusalawo okubasibira ewala ng’okutuukayo olina kuyita kuliyanja eddene.
Prempeh I yaddizibwayo mu bantu be mu Kumasi 1897, wabula Ssekabaka Muwanga Basasula II teyasobola kutuuka.
Kale nno, enkolagana eyo etambulidde ddala okutuuka Ku bazzukulu babwe, Kabaka Mutebi II ne Asantehene Nana Otumfuo Osei Tutu II.
Asantehene Nana Otumfuo yayagala nnyo muganda we gweyaddira mu bigere mu 1999, era naye neyetuuma Osei Tutu II nga mugandawe.bweyayitibwanga.
Mu 2018, Kabaka Mutebi yaweza emyaka 25 ng’atudde ku Nnamulondo ya ba Jjajja ffe, yayita abagenyi abawerako, era nayita Asantehene nga Omugenyi we Owenjawulo.
Asantehene yajja era yamala mu Buganda kumpi enaku 5 nga ali n’Emugema waffe.
Kati wayise emyaka kumpi Mukaaga okuva lweyatukyalira.
Omwaka guno nga 12, May, 2024, Asantehene naye yawezeza emyaka 25 ng’atudde Ku Ntebbe eya Zaabu. (Golden stool).
Kabaka waffe, Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II yayitibwa, naye olwokuba nga abasawo be bagala awummulemu ekimala, Beene teyasobola kwetaba ku mikolo gino.
Nnafuna omukisa Nze n’emwanyinaze Omumbejja Florence Nakayenga n’etuyitibwa okwetaba Ku mukolo guno.
Kino kyasoboka olwokuba nga tubadde tutera okugenda mu Lubiri e Ghana (Manhyia Palace) guno omulundi kati gwa kusatu.
Twakkiriza okugwetabako okwongera okunnyweeza enkolagana obwakabaka bwaffe gyebulina n’Obwa Ashanti.
Twayannirizibwa bulungi era twalabirirwa bulungi mu Lubiri lwa Asantehene olukulu oluyitibwa Manhyia Palace.
Bendera ya Buganda twagitambuza nga bwekisaanidde, era twayambala e Kanzu ne Gomesi okusobola okulaga nti Obwakabaka bwa Buganda buli wamu nabo.
Omulembe guno Omutebi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yagukwasa bavubuka, era okuva mu 2013, nze nakitwaala nga kiragiro okukola byensobodde ku lwa Mugema waffe, ku lwange n’eku lwa Buganda.
Ssaabasajja Kabaka Awangaale!