Omubaka wa Butuluuki (Turkey) mu Uganda Ambassador Mehmet Fatih akiise embuga, okubaako ensonga ez’enkizo ezituukibwako n’Obwakabaka bwa Buganda mu byenkulaakulana.
Mu nkolagana eno Obwakabaka busuubirwa okuganyulwa mu mirimu gya bamusigansimbi abava mu Butuluuki egikolebwa mu Buganda, omuli abavubuka okufuna obukugu mu mirimu egyenjawulo beggye mu bwavu.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga y’amukyazizza mu wofiisi ye mu Bulange e Mengo.
Ensisinkano eno yetabiddwamu Minister w’amawulire okukunga abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek Israel Kazibwe Kitooke.
Katikkiro agambye nti enkolagana etandikiddwako yakwanguyiza abantu ba Kabaka okwenyigira mu enkulaakulana ez’enjawulo, naddala eziganyula abavubuka.
Ambassador Mehmet Fatih, ategeezezza nti buli kiteeseddwako kyakuteekebwa mu nkola, okulaba nga abantu b’Omutanda batereeza ebyenfuna n’okufuna obukugu mu biti ebyenjawulo.
Agambye nti ebitongole by’Obwakabaka birina okukola emikago nebinaabyo ebye Butuluuki, okukyusa embeera z’abantu.
“Ensi mwetuli eriibwa abo abategeera emikisa ate nebagirondoola” – Ambassador Mehmet Faith
Bisakiddwa: Kato Denis