Bank ya Uganda enkulu eyongedde okulabula abakozi b’amaduuka ga Mobile Money okugoberera ekiragiro ekyayisibwa, eky’obutawa bantu sente zisukka kakadde ka shs kalamba oba okuziweereza, singa bannyini nsimbi babeera tebalina ndagamuntu
Bank egamba nti kino kigendereddwamu okuziyiza obufere n`obubbi obubadde butambuliira munkola eno eya Mobile Money, wamu nabo abatambuza ssente yekibi emanyiddwa nga money laundering.
Anthony Mukuuma okuva mu Bank enkulu eya Uganda, agamba nti ekiragiro kino era kyakuyamba n’amaduuka ababadde babbibwako ensimbi, ng’abanyazi basoose kulumika nnamba zabwe ez’ekyama (pincode).
Mukuuma agambye nti bakulondoola aba mobile money bonna abanaaba bagayaaliridde ekiragiro kino nga tebasaba bantu ndagamuntu bakivunaanibwa mu mateeka.
Ekiragiro kino kyatandika okukola okuva mu April,2024 nga kyesigamizibwa ku tteeka ly`okuwanyisiganya ebyensimbi, erya National Payment Systems Act 2020.
Bisakiddwa: Musisi John