Parliament eyisizza ey’embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2024/2025 ya trillion 72 n’obuwumbi 130.
Embalirira eno erinnye okuva ku trillion 52 n’obuwumbi 736 ey’omwaka gw’ebyensimbi guno ogugenda mu maaso 2023/2024 okutuuka ku trillion 72 n’obuwumbi 130.
Mu ngeri yremu Government yakoze ennongosereza mu mbalirira eya trillon 58 nobuwumbi 79 eya 2024 /2025 gyeyali yasooka okwanjula, nezirinnyisa okutuuka ku trillion 72 n’obuwumbi 130.
Parliament eyabadde eyokutandiika okukubaganya ebirowoozo ku alipoota evaamu embalirira, ku saawa 9 ezolweggulo, sipiika Anita Among yawaliriziddwa okwongezaayo olutuula okutuuka ku saawa 12 ez’akawungeezi okukubaganya ebirowoozo wekwatandikidde, okusobozeaa akakiiko ka parliament ekembalirira okumaliriza okwetegereza ensimbi ezaayongeddwa mu mbalirira eno.
Alipoota eyanjuddwa eri parliament amyuuka ssentebbe w’akakiiko kano Achia Lemigio, ku trillion 72 n’obuwumbi 130.
Government eraalise okukungaanya omusolo gwa trillion 31 nobuwumbi 389 ensimbi endala ezisigalawo kumpi trillion 40, government yakuzeewola.
Trillion 9 nobuwumbi government egenda kuzikozesa okusasula amagoba ku mabanja agazze gewolebwa.
Trillion 3 nobuwumbi 149 zakusasula ku mabanja gennyini government gezze yewola ebweru w’eggwanga, songa trillion 12 zakusasula agamu ku mabanja government geyeewola munda mu ggwanga.
Oluvanyuma lw’okuyisa embalirira eno, Sipiika wa Parliament Anita Annet Among agaddewo omwaka gwa parliament ogwokusatu, nga bwerindirira omukulembeze weggwanga okuggulawo omwaka gwa parliament ogwokuna.
Sipiika Annet Anita Among agambye nti entuula eziddako, parliament yakuzitwala mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, nga yakutandiikira mu kitundu kyobukiika kkono bw’eggwanga mu kibuga Gulu, bwenaava eyo, yakwoolekera ekibuga Masaka.#