Government etongozza enteekateeka y’Okusitula obuweereza obwenjawulo mu Kampala n’emirirwaano,oluvannyuma lwa banka y’ensi yonna okugiwola Obukadde bwa doola za America obusoba mu 600, nga buno bubalirirwaamu trillion ssatu n’omusobyo mu shilling za Uganda.
Mu ntekateeka emanyiddwa nga Greater Kampala metropolitan area urban development program, government z’ebitundu zakutuusa obuweereza obwetaagisa omuli Enguudo ennungi, Amalwaliro n’Obuweereza obusaanidde mu masomero.
Bwabadde akwasa abakulira emirimu mu munisipaali ne district ezikola Kampala n’emirirwaano, emmotoka 9 okulondoola emirimu gyenteekateeka eno ku wofiisi ya ssabaminister mu Kampala, minister wa government ez’ebitundu Raphael Magyezi agambye kizibu nnyo okukulaakulanya Kampala nga ebitundu ebimwetoolodde birabika bubi.
Munisipaali eziweereddwa mmotoka kuliko Nakawa, Kawempe, Makindye Ssaabagabo, Entebbe, Lubaga, Mukono munisipaali, Nansana mu Wakiso, Wakiso district, KCCA, Mpigi district.
Bisakiddwa: Kato Denis