Police ya Uganda ekakasizza nti abantu mwenda bonna abaabadde basaabalira ku kinaala ekyagudde mu Nnyanja Nalubaale, baasimattuse, wabula nnyini kinaala wakuvunaanibwa.
Ekinaala kyabadde kiva ku mwalo gwe Kasenyi mu bitundu bye Ntebe nga kyolekera ogwe Kisaba, ekisangibwa mu gombolola ye Kyamuswa mu district ye Kalangala.
Wekyafunidde akabenje kibadde kyakava ku mwalo gwe Lukuba okutwalayo abantu nébintu byabwe, kyeyongerayo ku mwalo gwe Kisaba mu Gombolola ye Kyamuswa mu district ye Kalangala gyekifunidde akabenje mu kiro.
Police egamba nti kyabadde kimenya mateeka okukkiriza ekinaala kino okusaabaza abantu obudde obw’ekiro.
Okusinziira ku kiwandiiko ekufulumiziddwa Police, Yingini ze kinaala kino yeyavuddeko obuzibu oluvannyuma lwókuwagamira mu butimba obwabadde butegeddwa mu Nnyanja.
Police era etegezezza nti emu ku Yingini zino yagudde mu mazzi nga kyabadde kizibu ekinaala kino okweyongerayo, ekyaviiriddeko omuyaga okukuba eryato negulisuula ku mwalo e Lukuba.
Police yókumazzi ebadde enoonyereza ku kabenje kano, n’okuzuula oba nga tewali muntu yafiiriddemu, ennyuluddeyo Yingini z’ekinaala kino zombi ezisanze zaawagamidde mu butimba.
Kubaddeko n’ ebintu ebiralala okuli Crate za Bbiya ne soda, ebidomola ensawo nébintu ebirala ebyabadde ku kinaala.
Ssentebe wa District ye Kalangala Rajab Ssemakula ategezezza nti kibayambye nnyo okuba nti amawulire g’akabenje kano gaatuuse mu budde eri buli muntu akwatibwako, nebasitukiramu ne police nebatandika omuyiggo oguyambye okutaasa abantu ababadde ku kinaala.
Police y’okumazzi ewadde abantu enamba gyebalina okukubako mu bwangu eri 0800300113.