Abalamazi abagenda okumala ennaku ennyingi ku biggwa by’abajulizi e Namugongo,baweereddwa amagezi omutambula ne sente ezimala okwegulira emmere n’ebyokulya ebirala.
Bwanamukulu alabirira ebiggwa bya bajuliizi abakatuliki e Namugongo Vincent Lubega ategezezza CBS, emyaka egiyise bazze bafuna okusoomozebwa kw’abantu abamu abatambula nga tebalinamu ka sente konna kakugula byakulya so nga babeera bakumalawo ennaku nnyingi, nabamu babeera tenalina sente zakubazzaayo wabwe ng’okulamaga kuwedde.
Mu ngeri yeemu Fr.Lubega ategezezza nti eby`okwerinda byongedde okunywezebwa ku biggwa by’abajuliizi e Namugongo, era nga n’ebibinja by’abalamazi abava mu bitundu bye wala byongedde okutuuka.
Fr. Vincent Lubega ategezezza CBS, nti bakolaganidde wamu n’ebitongole ebikuuma ddembe wamu n’obukiiko bw’ebyalo ebyetoolodde Namugongo okunyweza ebyokwerinda.

Wateereddwawo weema abalamazi abava ewala webatuukira nebewandiisa, nebabafunira eky’okunywa n’ewokusula.
Ng’ogyeko okulamaga ku kifo awali ekiggwa ky’abajulizi e Namugongo, ekifo kirimu eby`obulambuzi ebyenjawulo omuli ekiggwa ekiyoyoote obulungi, entaana y’omujulizi Kalooli Lwanga eyazimbibwa munda mu kiggwa ekolera abakkiriza ebyamagero, akayanja akalina amazzi amatukuvu ag’omukisa nebirala bingi.
Mu kiseera kino waliwo okusaba kwa novena okutegekebwa buli lunaku, ng’abakristu begayirira omutonzi ku nsonga ezenjawulo.
Olunaku lw’abajulizi lukuzibwa buli mwaka nga 03.June,ku biggwa by’abajulizi abakatuliki n’abakulisitaayo, so nga n’abasiraamu nabo bajjukirwa mu ngeri eyenjawulo.
Bisakiddwa : Musisi John Munnandagwe
Ebifaananyi: Olukiiko oluteesiteesi olwe Namugongo