Akulira eddwaliro ly’abatawaanyizibwa endwadde z’emitwe erya Butabika Referral Hospital Dr. Juliet Nakku mweraliikirivu olw’omuwendo gwa banna Uganda abeeyongera okulwala endwadde z’obwongo.
Dr. Nakku agamba nti ekisinga ate okwennyamiza gwemuwendo gw’abakyala ogweyongedde ennyo ng’ekizibu kino kisinze kuleetebwa ttamiiro lya mwengo abakyala gwebeekamirira ekisukkiridde.
Asinzidde ku Media Center mu Kampala n’agamba nti n’abayizi mu masomero bangi bongedde okulwala mu bwongo olw’embeera ezitabasobozesa kuwummula kimala ku masomero.
Ayagala government ebayambe baweebwe ensimbi bazimbe ebifo ebijjanjabirwamu abantu bano mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo kubanga Butabika tekyabamala.
Endwadde z’emitwe kifuukidde ddala kizibu kyamaanyi mu Uganda nga ku bantu ekikumi abakeberwa, 30 baweebwa ebitanda ekyeraliikiriza ennyo.
Bisakiddwa: Kellen Naluyange.