• Latest
  • Trending
  • All
Emisaala gy’abakozi kikyali kizibu kinene mu nsi yonna – waliwo abaasasulwanga obutu bw’omunnyo

Emisaala gy’abakozi kikyali kizibu kinene mu nsi yonna – waliwo abaasasulwanga obutu bw’omunnyo

May 2, 2024
PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

May 19, 2025
Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

May 19, 2025
Ebbeeyi ya shilling nga bweyimiridde mu katale k’ensimbi

Ebbeeyi ya shilling nga bweyimiridde mu katale k’ensimbi

May 19, 2025
Uganda Airlines mu butongole etandise eηηendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

Uganda Airlines mu butongole etandise eηηendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

May 19, 2025
Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

May 18, 2025
Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

May 17, 2025
Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

May 16, 2025
People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

May 16, 2025

Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce

May 16, 2025
Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

May 15, 2025
Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

May 15, 2025
UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

May 15, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Emisaala gy’abakozi kikyali kizibu kinene mu nsi yonna – waliwo abaasasulwanga obutu bw’omunnyo

by Namubiru Juliet
May 2, 2024
in Amawulire
0 0
0
Emisaala gy’abakozi kikyali kizibu kinene mu nsi yonna – waliwo abaasasulwanga obutu bw’omunnyo
0
SHARES
149
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Buli nga 01 May, olunaku lwabakozi, ensi ezenjawulo olunaku luno luzikuza mu ngeri yanjawulo nga mwemuli abalufuula olunaku olwokuwumula, abalala abakozi bekolamu omulimu mu bibiiina bya bwe ebyabakozi nebakumba mu nguudo z’ebibuga ate abalala nebagabula ebijjulo okwekulisa ebibeera bituukiddwako, abalala bakuba tooci n’okwefumiitiriza ku biyinza okukyusa obulamu babwe.

Olunaku lw’abakozi mu nsi yonna lwatandika mu biseera amakolero wegaatutumukira ennyo mu Bulaaya, mu myaka gya 1900,  era nga gaali gakozesa abakozi bangi wabula ng’embeera mwebaali bakolera yali yennyamiza n’eddembe lyabwe nga lirinnyirirwa.

Abakozi baasalawo okwekolamu omulimu okulwanirira eddembe lyabwe,  era n’okusalawo ku nsonga zabwe entono zebaalinako obusobozi.
Baatandikira ku mugendo gw’okusaawo essaawa zebaali balina okukolera buli lunaku, nezebaalina okuwummulamu.

Nga 01 May,  1904 lwe lunaku olwasookera ddala abakozi mu mawanga ga Bulaaya lwebaafuluma amakolero abamu okweyiwa ku nguudo, okulwaniyira eddembe lyabwe.

 Ogumu ku mugendo ogw’ebibiina by’abakozi ogwasookera ddala  gwayisa nti wakiri omuntu akolerenga essaawa 8, awummule esaawa 8 era yebake esaawa 8.

Olunaku lw’abakozi bwerutyo luwa ensi yonna okwefumitiriza abakozi gyebavudde, webali olwaleero, ebikyabasomooza awamu n’ebisomoozo ebibalindiridde mu biseera ebyomumaaso.

Ezimu ku nsonga eziri ku mwanjo ezisoomooza abakozi mwemuli ensansula y’emisaala embi tezimusobozesa kutuukiriza byetaago bitandikirwako, abakozesa abatasasulirako ddala.

Abamu ku bakozi, abakozesa babwe babaliisa akakanja, tebalina bibayamba kweziyiza bulabe ku mirimu egiyinza okuvaako ebirwadde, okukola nga tebalina bbaliwa zibakakasa ku mirimu awamu n’emirimu egibateeka mu matigga.

EBITUUKIDDWAKO

Mu bimu ku bintu abakozi byebazze batuukako bukya nga batandika kulwanirira ddembe na mbeera yabwe mwemuli:

1.     Okukola esaawa engereke ezakaanyizibwako ensi yonna z’essaawa 8 olunaku, era ng’omukozi okusuka essaawa ezo abeera alina okusasulwa ensimbi enyongeza.

2.     Abakozi okukkirizibwa okwegattira mu bibiina by’abakozi. Ebibiina eby’abakozi bibayamba okuteeseza wamu kirindi ku nsonga ezibakosa,  mu kifo kya buli omu okufutyankibwa mu kimpoowooze.

3.    Ebitongole ebimu byasalawo okusaawo abantu ab’enkizo abakozi ba  Human resource managers ne  ba Labour officers  gyebasobola okutuukira okwanjula ensonga zabwe ezibakosa

4.     Amawanga agamu galina  n’ababaka abalondebwa okukiikirira ensonga z’abakozi mu Parliament .

 5.     Amateeka agalambika engeri omukozi gyayinza okufuumulwa ku mulimu singa abeera ne nsobi gyabeera akoze. Mu mateeka gano mwemuli erirambika nti ogwa kawala tegusalwe nga ng’ogwakalenzi teguwuliddwa. Kino kitegeeza nti omukozi abeera alina okuweebwa omukisa okwewoozako.

 ENSASULA Z’ABAKOZI EZENJAWULO

Edda abantu bakolera nga bitole bya mmere oba okufuna webateeka oluba. Ensasula esookera ddala mu byafaayo gwali munnyo, nti kuba sibuli muntu nti yafunanga omukisa  ng’okufuna omunnyo ogwokuteeka mu mmere ate mu kigero ekituufu, so nga guyamba ku bulamu bw’omuntu awamu n’okuwoomesa emmere.

Wabula wetutukidde leero ng’ensasula z’abakozi eziwerako ziteekeddwawo mu nsi yonna, nga  mwemuli:

a)     Okusasulwa esaawa omuntu zabeera akoze. Amawanga agamu abakozi tebaweebwa musaala nga bwegumanyiddwa e Uganda ogwa buli mwezi, wabula omuntu abalibwa esaawa zeyewaayo okukola buli lunaku,  bwatyo buli saawa nebalibwa sente ze nezimuweebwa mu kiseera kyebabeera bakaanyako gamba nga ku nkomerero ya wiiki.

b)    Omusaala: Omusaala ogwabuli mwezi gwegusinga okumanyikwa wadde nga waliyo n’igwomwaka. Mu kino, omuntu akola ennaku ttaano mu wiiki buli mwezi okumalako omwaka.

c)     Okugabana amagoba: Mu mawanga agamu mu ma kampuni agamu, abakozi bakaanya ne ba nanyinni makampuni nti singa kampuni eyingiza amagoba okusukka omutendera omugereke, amagoba ago agasusseemu kampuni enazigabana n’abakozi.

d)    Emirimu egimu gisasulira abakozi sente ezokujanjabwa awamu n’okuweerera abaana.

Werutuukidde leero nga mu Uganda abakozi abawerako bakolera mu mbi etalambikuddwa bulungi, so nga ne government ekyalemereddwa okuyisa etteeka erirambika omusaala ogw’essalira ogusookerwako buli mukozi ogwa mimimum wage.#

Bisakiddwa: Lukyamuzi Joseph

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government
  • Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF
  • Ebbeeyi ya shilling nga bweyimiridde mu katale k’ensimbi
  • Uganda Airlines mu butongole etandise eηηendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza
  • Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -