Government ya Uganda egamba nti okuggalawo kw’emikutu gy’amawulire egikolera wansi wa kampuni ya Nation Media kyali kiragiro okuva eri omukulembeze w’eggwanga Gen. Yoweri Kaguta Museveni, nti era waliwo okunoonyereza okugenda maaso ku mikutu gy’amawulire gino ku ngeri gyegikolamu emirimu gyabwe.
Minister w’ebyempuliziganya n’okuluηηamya eggwanga Justine Kasule Lumumba abadde ku Media Centre mu Kampala naategeeza nti ab’ebyokwerinda bebaakulembeddemu okunoonyereza kuno, era nga bwebanaaba bamalirizza okunoonyereza bakuwaayo alipoota eri president Museveni bwekunaaba kuwedde ku ngeri emikutu gino gyegyikolamu emirimu gyabwe baakubuulira eggwanga ebinaaba bizuuliddwa.
Mu kiro kya Sunday nga 28 June,2026 abebyokwerinda baazingako emikutu gya Nation Media okuli NTV, Spark tv, Dembe fm ne Kfm ne gigibwa ku mpewo, saako okuggala wofiisi za Daily Monitor, era ng’okuva olwo tewabadde nsonga ntongole erambikibwa yaviirako mikutu gino kuggalwawo.
Minister Lumumba abuulidde bannamawulire nti abanoonyereza kuliko eggye ly’eggwanga erya UPDF, Police, ekitongole ekinoOnyereza ku misango ki CID ne birala, era asabye abantu okubeera abakkakkamu nga bwebalinda abakuuma ddembe bakole omulimu gwabwe.











