Omuteebi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, Ivan Ahimbisibwe, club ya Zakho egucangira mu liigi ya babinywera eya Iraq emwetaaga, wadde nga waliwo ebigambibwa nti KCCA FC tenakkiriziganya ku mutemwa gw’ensimbi club eno zeerina okusasula.
Ivan Ahimbisibwe atadde omukono ku ndagaano ya myaka 2.
Abadde azannyira club ya KCCA eya Uganda Premier League.
Agenze okuva mu KCCA ng’endagaano ye ebadde ekyabulako omwaka gumu.
Ivan Ahimbisibwe ye yasinze okuteeba goolo ennyingi mu Uganda Premier League season ewedde eya 2025/2026 ne goolo 14.
Wagendedde e Iraq nga ne club ya Azam eya Tanzania ebadde emwetaaga naye balemeddwa okukaanya.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe











