Obwakabaka bwa Buganda butonzeewo akakiiko akenjawulo, akagenda okukolagana obutereevu ne ministry y’ebyobulamu mu government eya wakati wamu ne bannamikago baayo omuli ab’Omukago gw’Amawanga amagatte ogw’enkulaakulana UNDP, mu kulwanyisa Ebibamba ebigwa mu ttuluba ly’Ebyobulamu, naddala ku ndwadde enkambwe nga Ebola.
Akakiiko kagenda kukulemberwamu minister w’Amawulire, Okukunga abantu era omwogezi w’Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe Kitooke, Owek Joseph Kawuki minister wa gavumenti ezebitundu, Omuk Michael Kawooya Mweebe ssenkulu wa CBS, Omuk Patrick Ssembajjo ssenkulu wa BBS Terefayina, Omuk Adrian Mukiibi ssenkulu wa Nnaabagereka Development Foundation, Dr.Jane Ruth Nassanga, Dr. Fiona Kalinda, Dr. Joseph Mugagga, n’Omuk David Muwonge.
Bwabadde atongoza akakiiko kano mu Bulange e Mengo, Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka Owek Robert Wagwa Nsibirwa, agambye nti enkolagana eno etuUkiddwako olw’Obwesigwa n’Amaanyi g’Obwakabaka mu kukunga abantu ba Ssaabasajja ku mitendera egyenjawulo ,n’okutumbula Ebyobulamu
Owek Nsibirwa agambye nti Obwakabaka nga buyita mu kusomooza okwenjawulo,busobodde okubangawo enkola ezenjawulo ezissiddwa mu buwandiike, ezizze zirambika abakugu ku nsonga z’ebyobulamu, era nga zisasaanyiziddwa mu bakulembeze Ssaabasajja bazze alonda.
Owek Nsibirwa asabye abantu ba Buganda okwekengera abettanira Okulya Enkima, abakyafu n’abantu abalala abakola ebintu ebisaasaanya endwadde okuva mu nsolo nezikwata abantu bategeeze ku bakulira ab’ebyokwerinda.
Minister w’ebyobulamu ,n’ebyenjigiriza era nga yavunaanyizibwa ku wofiisi ya Nnaabagereka Owek Chotilda Nakate Kikomeko, yebazizza bannamulago abakwatiddeko gavumenti okulaba nga akakiiko Kano katekebwawo,naawera nti kaakukola ekisoboka okutumbula embeera z’Abantu ez’ebyobulamu.
Commissioner mu ministry y’Ebyobulamu nga yavunaanyizibwa ku kutumbula eby’obulamu Dr Richard Kabanda ,agambye nti enkolagana eno agenda kuvaamu ebibala bingi, kyokka naategeeza nti essira ligenda kussibwa nnyo mu Buddu naddala e Kyotera , gyagambye nti Bannansi ba Congo Kati bayitayo nebeesogga Uganda mu ngeri etali nnuηηamu.
Bena Mugema Omukungu mu kitongole ky’Amawanga amagatte ekyenkulaakulana UNDP, Bena Mugema, agambye nti enkolagana eno agenda kunnyikiza Obuweereza mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo, nga essira lissiddwa nnyo ku Bukulembeze obw’ennono, nga bukulembeddwamu Obwakabaka bwa Buganda .
Bisakiddwa: Kato Denis












