Omukulembeze wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa mu butongole akubirizza olukiiiko lwa ba minister olusoose mu kisanja kino, ekigenda okumala emyaka 5 ekya 2026-2031.
President Museveni yaddamu okuwangula akalulu k’obwapresident ku kisanja ekyomusanvu, akaakubwa nga 15 January,2026.
Ensisinkano eno ebadde mu maka gwobwa President Entebbe era yetabiddwamu baminister bonna beyalonda okukola naye emirimu, abaakuba ebirayiro nga 08 June,2026.
Ba minister bano babadde bakava e Kyankwanzi okwongera okubangulwa mu byobukulembeze, era ng’olusirika luno lwaggulwawo President Museveni.
Ba minister bano bavunayizibwa butereevu okulondoola emirimu gya government gyonna n’okukakasa nti gitambula bulungi.
Olukiiko luno luguddewo emirimu gya government mu butongole, era ng’entuula za ba minister zini zaatekebwawo ssemateka wa Uganda owa 1995, ng’abawa obuyinza okutuula okukubaganya ebirowoozo ku ngeri emirimu gyegirina okutambulamu mu government.
Olukiiko lwa baminister luno lwetabiddwamu amyuka President Rt. Maj. Jessica Alupo, sabaminister wa Uganda Robina Nabbanja, Nnampala wa government Dr. Jane Ruth Aceng, Ssaabawandisi wa NRM Richard Todwong, abateesiteesi abakulu aba ministry za government n’ebitongole ebyenjawulo, sso nga ne senkulu we kitongole kya Kampala Capital City Authority Hajjat Sharifah Buzeki abaddemu n’abakungu abalala.#













