Ekibinja ekisoose ekya bannauganda 273 okuva e South Africa kituuse mu Uganda, mu kiro ekikeesezza leero nga 03 July,2026, nga betegula obukambwe bwa bannansi ba South Africa abagobye abagwiira mu nsi yabwe.
Bannansi ba South Africa beekumamu ogutaaka ne bafumuula abagwira bonna munsi yabwe nga bagamba nti babamazeeko emirimu, era baali baateekawo nsalensale wa 30 June,2026 nga bonna bafulumye mu ggwanga lyabwe.
Mu bakomezeddwawo mu Uganda kuliko abaana abato 18, abantu abakulu bali 255.
Bannauganda 1200 bebewandiisa nga bagala okuzzibwa okwaboobwe, era wiiki wenagwerako abasukka mu 800 basuubirwa okuba nga bajjakuba bakomezeddwawo.
Ekibinja kya bannauganda ekituuse kitambulidde mu nnyonyi ya Uganda Airlines, era kibadde kiwerekeddwako omubaka wa Uganda mu South Africa Ambassador Paul Amoru.

Ku kisaawe Entebbe kyaniriziddwa akolanga minister wa Uganda ow’ensonga z’amawanga amalala Haruna Kasolo n’abakungu abalala.
Omubaka wa Uganda mu South Africa Ambassador Paul Amoru ategezezza CBS nti enteekateeka zaakoleddwa bulungi, ng’abakyasigaddeyo bakuumibwa mu bifo 4 ebyateereddwawo.#











