Ennyonyi esooka eya Uganda egenda okunona bannauganda abasobeddwa e South Africa, esuubirwa okusimbula ku makya nga 01 July,2026.
Government ya Uganda eriko ebifo byeyalagidde bannauganda abaagala okuvaayo webalina okuηηaanira okwewala obulabe, era awo webagenda okuggyibwa okudda okwaboobwe.
Nsalesale eyaweebwa abagwiira okwamuka South Africa asiddeko ssaawa busaawa ng’agwako olwaleero nga 30 June,2026.
Ebibiina byabannansi ba South Africa ebyeyita ebirwanirize by’eddembe lya bannansi ba South Africa, bye byawa abagwiira nsalesale okwamuka South Africa ,bwebagaana babasindikirize na lyanyi.
Ebibiina bino birumiriza abagwiira okumalako bannansi ba South Africa emirimu, ng’abagwira beenyigira mu mirimu ne business ezandikoleddwa bannansi ba South Africa.
Amawanga agawera naddala aga Africa ganonyeeyo bannansi baago.
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa yalagira ministry y’ensonga zamawanga amalala okunonayo bannauganda.
Akolanga Minister w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Kyeyune Haruna Kasolo agambye nti wabaddewo okusoomooza nti bannauganda bangi abali e South Africa tebalina biwandiiko, era nga kikyali kizibu okumanya omuwendo gwa bannauganda oguliyo era ogwetaaga okuyambibwa.
Minister Kasolo agambye nti ministry ye ng’ekolera wamu nekitebe kya Uganda mu South Africa, bataddewo ebifo bannauganda webalina okukuηηaanira nga gavument bwekola ku nteekateeka ebanonayo.#











