Kooti esookerwako e Luzira esindise ku alimanda e Luzira eyaliko minister w’okukwasisa empisa era omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu Miria Matembe, ng’avunaanibwa emisango gy’okusiga obukyayi.
Omulamuzi Sheilah Gloria Atim asindise Matembe ow’emyaka 73 mu nkomyo e Luzira okutuusa ku Wednesday nga 01 July,2026, lwanazzibwa mu kooti okuwulira okusaba kwe okuyimbulwa ku kakalu ka kooti.
Oludda oluwaabi lulumiriza Matembe nti mu June 2026, ng’asinziira ku DK TV mu Nakawa Division mu Kampala, yategeeza nti emisolo gyonna egisasulwa bannauganda, government egimalira mu kusasulira obutitimbe bw’ensimbi eri ba minister Abanyankole.
Oludda oluwaabi lugamba nti ebigambo ebyo bisiga obukyayi, nga biyinza okuviirako abantu okukyawa abanyankole.
Matembe emisango agyegaanye, era naasaba kooti emuyimbule ku kakalu awoze ng’ava ewaka, olw’okuba ng’emyaka gye gigenderedde era ng’alina n’obukosefu mumugongo ng’alina okufuna obujjanjabi obw’enjawulo.
Omuwaabi wa government Mariam Kulusum ategeezezza kooti nti okunoonyereza ku misango egivunaanibwa Matembe kukyagenda mu maaso.
Miria Matembe abadde amaze ennaku 2 nga tamanyiddwako mayitire, nga kigambibwa nti yali yawaambibwa ab’ebyokwerinda.
Bisakiddwa: Betty Zziwa











