Bannauganda babiri bebakafiira mu kwekalakaasa okuli mu ggwanga lya South Africa, olw’enteekateeka eyalangirirwa bannansi ba South africa ey’okufumuula abagwiira mu ggwanga erya
Akolanga minister avunanyizibwa ku nsonga z’amawanga amalala Kyeyune Haruna Kasolo agambye nti emirambo gyabannauganda bano gyakukomezebwawo mu nnyonyi yeemu government gyeyataddewo egenda okuleeta bannauganda abewandiisizza okudda ku butaka
Minister Kasolo agambye nti ateekateeka okugenda e South Africa okusisinkana abakulembeze mu nsi eyo okwogera ku nsonga za bannauganda ababadde bakolera mu ggwanga eryo mu mateeka, abaafiiriddwa emmaali yaabwe mu kusindikirizibwa kuno.
Waliwo ebibiina by’abantu ebyeyita ebirwanirizi by’eddembe lyabannansi ba South Africa, ebyasaawo nsalesale wa nga 30 June,2026 nga tebaagala kulaba mugwiira yenna akolera mu South Africa, nga bagamba nti babamalako emirembe nemirimu.
Amawanga agawerako naddala aga Africa gaasalawo okuwandiisa bannansi baago abaliyo, era bangi baggyiddwayo, so nga ne bannauganda bewandiisizza era bagenda kukomezebwawo era ng’ennyonyi esooka esuubirwa okuleeta abantu 200.











