Abantu 16 nga abavudde ku kyalo kimu babuze, bateeberezebwa okuba nti begasse ku batujju ba ADF.
Ebitongole by’eby’okwerinda ebirwanyisa ebikolwa eby’obutujju biri ku muyiggo gw’abantu bano, abavudde mu nnyumba ezenjawulo.
Okusinziira ku police abantu abateeberezebwa okwegatta ku kabinja ka ADF babadde babeera mu bitundu bye Kkonge- Lukuli mu ggombolola ye Makindye mu Kampala.
Baavudde mu maka okuli aga Abdul Rahman amanyiddwa nga Sseruwenda, Abudul Rashid amanyiddwa nga Ssemaganda, Ashiraf Lusiba, Hussein Waligo ne ya Ibrahim Kintu.
Fred Enanga ayogerera police mu ggwanga agambye nti abaabuzeewo babadde bakola emirimu egy’enjawulo okuli okuvuga boda boda, n’okutema ennyama wabula gyona bagisuddewo nebagenda okwegatta ku kabinja ka ADF.
Fred Enanga ategezezza nti bagenze n’abaana abali wakati w’emyaka 5 – 7 bebaatutte mu bikolwa ebyekiyeekera.
Fred Enanga ategezezza nti Police bendo bendo lye Rwenzori etwala district ye Kamwenge, eriko byeyongedde okuzuula, oluvannyuma lw’okukwata omuvubuka ow’emyaka 28 ayitbwa Bwambale Sadadi ku byekuusa ku bikolwa eby’ekitujju.
Kigambibwa nti Bwambale yakwatiddwa ng’agezaako okukola obulumbaganyi ku kkanisa eyalimu abantu nga basinza obudde obw’ekiro.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico