Bazzukulu ba Nsamba abeddira Engabi bongedde okulaga eryaanyi ery’okweddiza engabo y’empaka z’ebika bya Baganda ey’omupiira ogw’ebigere omwaka guno.2025, bwebakubye bazzukulu ba Kannyana abe Ngabi Enyuunga goolo 4-1 mu kisaawe e Wankulukuku.
Obuwanguzi buno bututte bazzukulu ba Nsamba ku mutendera gwa semifinal.
Ggoolo ezibawadde obuwanguzi ku quarterfinal ziteebeddwa Najib Yiga, Bruno Bunyaga, Viane Ssekajugo ne Yiga Steven.
Mungeri yeemu e Kkobe nalyo lyesozze semifinal bwe bakubye e Ngo goolo 4-2 mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso.
Endiga ekubye Omutima Omusagi goolo 2-0 e Wakiso, ate nga Esenene ekubye e Mamba Kakoboza goolo 2-1 mu kisaawe e Wankulukuku.
Kati ku mutendera gwa semifinal, Engabi Ensamba egenda kuzuzumba ne Kkobe, ate nga Endiga egenda kwambalagana ne Nsenene ku lw’omukaaga nga 31 May,2025.
Final y’empaka zino ejja kubeerawo nga 07 omwezi ogujja ogwa June mu kisaawe e Wankulukuku.
Emipiira egizanyiddwa olwaleero egya quaterfinal, gyetabiddwako minitser w’ebyemizannyo abavubuka ne Bitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga, omukulu w’ekika kye Ngeye Omutaka Kasujja Kyesimba Kibirige Kakande Sheba ow’omunaana ne omukulu w’ekika kye ky’Omutima Omusagi Nakirembeka Eng Allan David Allan Waliggo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe