Ministry ya Uganda ey’ebyobulambuzi etadde omukono ku ndagaano ne government ya Belgium nekigendererwa eky’okutumbula ebyobulambuzi n’okutondawo emirimu kikendeeze ku muwendo gw’abavubuka ba Uganda abasoma nebabulwa emirimu.
Mu Ndagaanao eno government ya Bubirigi ng’eyita mu kitongole kyayo ki Enable Uganda ewadde ministry y’ebyobulambuzi ensimbi ezisoba mu kawumbi ka shillin, nga zino zigenda kuweebwa ettendekero lya Uganda Hotel and Tourism Training Institute eribangula banna Uganda abasoma eby’obulambuzi erisangibwa e Jinja.
Bwabadde ateeka omukono ku Ndagaano eno minister webyobulambuzi retired Coloneri Tom Butime agambye nti eby’obulambuzi bikoze kyamaanyi okutumbula ebyenfuna by’eggwanga lino nga talina kubuusabuusa endagaano gyebakoze ne Bubirigi egenda kukola kyamanyi mu kusitula ebyenfuna bye ggwanga.
Country Director wa Enable Uganda Tom Vanneste agambye nti basanyufu okukolagana ne govenrment ya Uganda okutumbula ebbanguliro lya banna Uganda abasoma ebyobulambuzi erya Uganda Hotel and Tourism Training Institute.
Vanneste era agambye nti Belgium erina ekiruubirirwa okufuula Uganda ensi esiinga mu kutonderawo abavubuka emirimu nga eyita mu by’obulambuzi ate era baagala Uganda efuuke number emu ku Ssemazinga wa Africa mu kisaawe kyebyobulambuzi.
Principal wa Uganda Hotel and Tourism Training Institute Richard Kawere agambye nti obuyambi buno bwebafunye bugenda kukola kyamaanyi mu okutumbula omulimu gwabwe.
Kawere era agambye nti bagenda kukozesa ensimbi zino okutumbula omutindo gw’abayizi bebafulumya nengeri abasomesa gyebasomesaamu abayizi nga bagenda kudda ku nkola eya digital kisobozese abayizi baakuno okutuuka ku mutindo gw’ensi yonna.
Bisakiddwa: Ssekajiija Augustus