Alipoota ekwata ku ddembe ly’obuntu eyakoleddwa omukago ogwa National Coalition of Human Rights Defenders, eraze nti banna Uganda bangi bayita mu kunyigirizibwa okwenjawulo naye nti batya okuvaayo okwekubulira omulanga eri bekikwatako ekibaviirako obutafuna buyambi bwetaagisa.
Dr. James Nkuubi, omukugu mu kunonyereza era nga yeeyakulembeddemu okunonyereza kuno, bwabadde afulumya alipoota eno mu Kampala, agambye nti eggwanga likyali mu kattu akamaanyi naddala mu biseera bino ng’okulonda kwa 2026 kusembedde.
Dr. Nkuubi annyonyodde nti ssinga government tebaako kyekola ku bitongole ebirina okulwanirira eddembe lyobuntu okuba nga byebikulemberamu okulityoboola, eggwanga lyolekedde akatyabaga akaamanyi.
Agambye nti banna Uganda bangi kati baasalawo okukozesa emikutu emigatta bantu okutuusa n’okulaga obutali bumativu bwabwe eri ensi nga ne bannamawulire nabo tebakyatalizibwa.
Laurianne Comard, okuva mu mukago gwa Bulaaya ogwa European Union, (EU), agambye nti Uganda esaana okukwatagana naamawanga amalala okukuuma eddembe ly’obuntu obutatoobolebwa balala.
Robert Kirenga, ssenkulu wa National Coalition of Human Rights Defenders, agambye nti alipoota eno egendereddemu okutuusa eddoboozi eri beekwatako okuwulira eddoboozi lya banna Uganda ku nsonga ezibaluma.
Agambye nti embeera eriwo e, eviriddeko abantu abamu naddala abavubuka okuwaganyala, okwekalakaasa n’okuyingira ebyobufuzi ebikyafu nga balowooza nti ly’ekkubo eryokuyitamu okwenunula mu bibasoomoza.
Col Deo Akiiki, amyuka omwogezi w’amaggye mu ggwanga asinzidde wano nawakanya ebimu ku byogerwa ku maggye kuba ssibuli bikolwa ekikolebwa ebitongole ebikuuma ddembe nti bya magye ga UPDF, naye era nakakasa nti oluusi ebimu bigendereramu kutaasa bantu n’ebyabwe.
Asabye banna Uganda okwewala ebikolwa ebimenya amateeka nga balowooza nti ssibakukwatibwako.
Bisakiddwa: Ddungu Davis