Abantu 8 baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mubende nga bataawa, oluvanyuma lwa namutikwa w’enkuba okusuula eklezia ya ku ttaka, mwebadde nga basaba.
Enjega eno egudde klezia ya St Kizito ku kyalo Kanyago mu muluka gw’e Kijjumba mu gombolola ye Kiyuuni Mubende.
Ssentebe w’egombolola ye Kiyuuni Byamunugu Aloysius ategeezeza nti eklezia eno ebadde tenaggwa bulungi, era enkuba oluzze negitikkulako akasolya.
Abamu ku babadde mu eklezia eno bategeezezza nti banaabwe bakoseddwa nnyo nga nabamu bamenyese amagulu n’emikono, era nga baddusiddwa mu ddwaliro lya Mubende regional referral hospital.
Bisakiddwa: Ssebuufu Baanabakintu Kironde