Ekitongole ky’Obwakabaka eky’ettaka ki Buganda Land Board kyanirizza enteekateeka eyakoleddwa ekitingole kya KCCA okukomyaawo erimu ku ttaka ly’Obwakabaka eribadde mu mikono gya government nga libadde likyaddukanyizibwa ekotongole ki KCCA
Parliament yakkiriza KCCA okubaako ettaka lyegabako liizi mu kibuga.
Minister omubeezi owa Kampala Kabuye Christopher Kyoffatogabye agambye nti erimu ku ttaka lino, kwekuli erigenda okuzibwayo mu bwakabaka bwa Buganda.
Omwogezi wekitongole Kya Buganda Land Board munnamateeka Denis Bugaya agambye nti enteekateekano eno ey’ekitongole ki KCCA, Obwakabaka bugyanirizza n’emikono ebiri, era asabye ne government ez’ebitundu endala ezikyalina ettaka ly’Obwakababa okulizaayo eri Obwakabaka nga endagaano ya government n’Obwakabaka bwerambika.#