Wabaddewo akasattiro ku mmeeri eya MV NODIL Victoria esaabaza abantu okubaggya e Bukakata Masaka okudda e Entebbe.
Omuyaga ogw’amaanyi gukubye emmeeri eno ng’eri wakati mu nnyanja okumpi n’ekizinga kye Buwuvu, n’etanga okuyuuga okumala ebbanga eriwezeeko.
Embeera eno etadde abagoba b’emmeeri eno ku bunkenke, nebalagira abasaabaze bonna abagibaddeko okwambala bu life jackets, era nebalagira bonna okutuula ku ludda lumu olw’emmeeri.
Mu kiseera kino amazzi gabadde gatandise okuyingira mu mmeeri, era babadde bagasena nga bwegaddamu okuyingira.
Omuyaga buli lwegubadde gukuba, ng’amazzi gabikka emmeeri yonna obuwanvu bwa fuuti 12.
Abagoba b’emmeeri oluvannyuma batumizza emmeeri endala n’amaato okubeera obulindaala, okwanganga embeera ebeera esusse ogw’obulamuzi.
Sadala Musoke omu ku baddukanya emmeeri ya MV Nodil ategezezza nti oluvannyuma embeera ezze mu nteeko era abantu nebasaabala bulungi nebagoba e Nakiwogo.
Mu mmeeri eno kubaddeko abayizi abadda ku masomero.
MV Nodil yakatandika okusaabaza abantu okuva e Nakiwogo okugenda e Bukakkata, oluvannyuma lw’olutindo ku mugga Katonga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka okubomoka.
Abantu abawerako bakozesa ntambula ya ku mazzi nga bagamba nti olugendo olwo lubeera lumpi ko, bwogerageranya n’oluyita ku luguudo lwe Mpigi – Kanoni- Maddu- Ssembabule – Bukomansimbi – Masaka.#