Club ya Vipers eyongedde okulaga eryanyi mu mupiira gwa Uganda, bwesitukidde mu mpaka za Stanbic Uganda Cup bw’ekubye club ya KCCA goolo 2-0.
Omupiira guno ogubaddeko n’obugombe guzannyiddwa mu kisaawe kya FUFA ekitongole ekya Kadiba e Mengo mu Kampala.
Ggoolo eziwadde Vipers obuwanguzi ziteebeddwa Livingston Mulondo ne Yunus Ssentamu.
President wa FUFA Ssalongo Eng Moses Magogo, ngaali wamu ne loodi meeya wa KCCA Ssalongo Erias Lukwago be bakwasiza abawanguzi ebikopo n’emidaali, nga kwotadde nebirabo omubadde TV gaggadde okuva mu bannamukago b’empaka zino aba Stanbic Bank.
Vipers ne season eno efuuse Ssalongo, kuba yasooka kuwangula Uganda Premier League, nga kino ekikoze mulundi gwakubiri nga yasooka kukikola mu 2023.
Vipers mungeri yeemu ewangudde ekikopo kino omulundi gwayo ogw’okuna, nga yakiwangula mu 2016, 2021, 2023 ne 2025.

Vipers efunye obwa Ssalongo omulundi ogw’okubiri, nga Villa Jogo Ssalongo yesinga emirundi 6, KCCA ne Express mukwano gwabangi omulundi gumu buli omu.
Omukwasi wa goolo asinze ye Dennis Kiggundu owa Vipers, omuzibizi asinze ye Livingston Mulondo owa Vipers, omuwuwutanyi asinze ye Usma Arafat owa KCCA.
Abateebi abasinze ye Yunus Ssentamu ne Livingston Mulondo aba Vipers ate nga omuzannyi asinze ye Abdul Karim Watambala owa Vipers.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe